Amasasi ganyoose nga poliisi ekwata abagambibwa okuba abamenyi b'amateeka!

POLIISI ewaliriziddwa okukuba amasasi okugumbulula bamakanika ababadde bagiremesa okukwata abagambibwa okuba abamenyi b’amateeka.

Amasasi ganyoose nga poliisi ekwata abagambibwa okuba abamenyi b'amateeka!
By Moses Lemisa
Journalists @New Vision
#Amawulire #Mateeka

POLIISI ewaliriziddwa okukuba amasasi okugumbulula bamakanika ababadde bagiremesa okukwata abagambibwa okuba abamenyi b’amateeka.

 

Ekikwekweto kyaddiridde abantu abawerako okwekubira omulanga ku poliisi y’oku Kaleerwe ng’abamenyi b’amateeka bwe babayisa obubi okuli okubakuba n’okubanyagulula.

 

Kino kyawalirizza Amos Betungura atwala poliisi y’oku Kaleerwe okukola ekikwekweto mwe baakwatidde abavubuka 12 nga mu bano mwabaddemu abaludde nga banoonyezebwa.

 

Kigambibwa nti abavubuka bano beefudde mmo mu kunyagulula abantu era abamu ewa Mambule  gye batemera mmotoka enkadde , mu lufula y’oku Kaleerwe n’awalala.

 

ASP Amos Betungura, atwala poliisi y’oku Kaleerwe yategeezezza nti ebikwekweto kati babitaddemu amaanyi kuba abantu bangi basusse okwemulugunya.

 

Yagasseeko nti ekikwekweto baakutte abantu 12 ku bano 5 baayimbuddwa era abalala bagenda kutwalibwa mu kkooti kuba baasangiddwa n’ebintu ebikozesebwa okumenya ebizimbe n’enjaga.

 

Yasabye abatuuze okukolagana ne poliisi okulaba nga balwanyisa abakyamu era omusango guli ku fayiro nnamba 31/01/09/2025.

 

Abaakwatiddwa kuliko Rashid Nsubuga, Ibrahim Lwamanyi, Ashiraf Lubega ng’ono ye baamusanze ne nnyondo n’ekyambe , Isma Mulangira ono kigambibwa nti y’omu ku bateega abantu mu mataawo g’oku luguudo lwa Northern  , Abdul kakande, Abdul Sserwanja ne Musisi Emmanuel nga bano baakutwalibwa mu kkooti.

 

Robert Mutyaba  omu ku basuubuzi ewa Mambule yatageezezza nti abaakwatiddwa bonna  abamu si bakyamu naye kuliko abavubuka basatu ab’omutawaana nga bateega abantu ku ttaawo ly’oku kaleerwe , Bwaise ,Kawaala okutandika ssaawa emu ey’akawungeezi