TTIIMU y’abakugu abanoonyereza ku nfa ya Brig. Gen. Tom Kikoyo Kabuye bakung’aanyizza obujulizi bw’ebintu eby'enjawulo ne babutwala mu kifo kya Gavumenti ekya Government Analytical Laboratory okwongera okubyekebejja.
Poliisi, amagye n’abasawo bali mu kunoonyereza ekyasse Kabuye eyasangiddwa ng’afiiridde mu kifo kya Salaabwa Gardens Hotel e Kikyusa mu disitulikiti y’e Luweero.
Ebintu ebyatwaliddwa okwekebejjebwa kuliko; omusaayi gw’omugenzi, omusulo, obutundu obwaggyiddwa mu lubuto ne 'sampo' z’ekibumba, obwongo n’ensigo ebinaayamba okuzuula ekituufu ekyamusse.
Omwogezi w’eggye lya UPDF, Major Gen. Felix Kulayigye yagambye nti okunoonyereza kukyagenda mu maaso naddala mu mbeera ng’omugenzi teyafiiridde mu maka ge oba enkambi y’amagye.
Brig. Kabuye yasangiddwa ng'afiiridde mu kisenge mwe yasuze ku Ssande ku makya nga yasangiddwa agudde wansi ng’abimbye ejjovu. Ensonda zaategeezezza nti olw'okuba omugenzi tabadde na nnyumba mu kyalo ate ng’alina by'akolerayo, yasazeewo asule mu wooteeri.
Bwe yatuuse mu kifo, yasoose kunywamu n’abataka n’oluvannyuma n’ayingira ekisenge kye yabadde apangisizza okwebaka. Omulambo gwajjiddwaawo ne gutwalibwa mu nkambi y’amagye e Bombo.
Embwa za poliisi enkonzi z’olusu ezaaleeteddwa ne zitambula nga zigenda mu ffumbiro ekitegeeza nti waliwo omuntu eyatuuseeko ku kisenge ky’omugenzi ng’ava oba n’adda ku ludda lw’effumbiro.
Kkamera eziri mu kifo nazo zaatwaliddwa okuyambako okuwa obujulizi ku byabaddewo ekiro