Bakubiriziddwa ku mirimu gy’omu mutwe

ABAVUBUKA bakubiriziddwa okwettanira emirimu gy’omu mutwe bwe bajja okwegobako obwavu mu kifo ky’okumalira amaanyi gaabwe mu bitalina kye bibagattako

Balinda (wakati) ng’akebera ebintu abavubuka bye bakola.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

ABAVUBUKA bakubiriziddwa okwettanira emirimu gy’omu mutwe bwe bajja okwegobako obwavu mu kifo ky’okumalira amaanyi gaabwe mu bitalina kye bibagattako.
Bino byayogeddwa Vicky Balinda, amyuka omubaka wa Pulezidenti mu Makindye Ssaabagabo bwe yabadde e Masuuliita mu Wakiso ng’asisinkanye abavubuka abakola ebyemikono abeegattira mu kibiina ekya
Assay Youth Initiative.
Bano baayita mu nteekateeka ya gavumenti ez’okusomesa abavubuka ebyemikono oluvannyuma ne batandikawo emirimu okuli; okukola engatto, okusiba enviiri, okutunga ekyalaani, okukuba amatoffaali n’ebirala.
Balinda wano w’asinzidde n’akubiriza abavuka era bajjumbire enteekateeka za Gavumenti ez’okwekulaakulanya era baleme kukozesebwa bannabyabufuzi.
Omukolo guno bagukoze okwetegekera okukyaza Gen. Salim Saleh nga October 24. Ibrahim Nakanoba, akulira abavubuka mu kibiina kino yayogedde ebimu ku bigendererwa byabwe ng’ekisinga kwe kusitula embeera z’abavubuka. Abavubuka bolesezza ebimu ku bye bakola okuli engatto n’ebirala.