Abakkiriza bakubiriziddwa okwongera amaanyi mukulwanyisa ebikolwa by'okkukusa abaana

Abantu ab’enzikiriza ez’enjawulo okwabadde Abakatoliki, Abasiraamu, Abaporotestante, Abasodokisi, aba Bahai n’Abalokole baakungaanidde mu ku Sharing Youth Centre, e Nsambya, okusabira eggwanga liggweemu ekikukusa bantu.

Ssaabasumba Semogerere nga bawayaamu
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

Abantu ab’enzikiriza ez’enjawulo okwabadde Abakatoliki, Abasiraamu, Abaporotestante, Abasodokisi, aba Bahai n’Abalokole baakungaanidde mu ku Sharing Youth Centre, e Nsambya, okusabira eggwanga liggweemu ekikukusa bantu.

Omukolo gw’abaddewo ku Lwokutaaono nga September 12 (2025). Gw’akulembeddwa Ssabasumba w’essaza ekkulu ery’e Kampala, Paulo Ssemogerere ey’ennyamidde olw’okweyongera  kw’omuwendo gw’abantu abakukusibwa nebatwalibwa munsi z’ebweru ngabasuubiziddwa ebirungi, omuli okusoma, n’okukola emirimo egyibawa ssente ennyingi, kyokka ate bwebatuuka eyo,  nebateekebwa mu mbeera ey’obuddu, nebatulugunyizibwa n’okukabassanyizibwa ngabakakibwa ekukola eby’obukaba, ekibaviirako okufuna obulemu obw’omubiri, n’obw’obwongo. Y’asabye gavumenti ey’ongere amaanyi mukulwanyisa obumenyi bw’amateeka buno, ng’ekwata abo bonna ababwenyigiramu mu ngeri enteeketeeke, omuli bakayungirizi, abatambuza abakukusibwa, n’ababagula.

Abaana nga basanyusa abantu

Abaana nga basanyusa abantu

 “Ekikukusa bantu tekiri bunaayira, Naffe wano ky’atuzingako dda, Abantu baffe bangi omuli abakyala, abavubuka n’abaana bawuudiisiddwa nebatwalibwa ebweru, nebatundibwa ate ababaguze nebabayisa nga eby’okuttale. Nawano ewaffe tulaba abaana abakukusibwa okua e Karamoja nebaleetebwa wano okukozesebwa abalala bo bafune ssente. Tusabe Katonda abudeebude abo abatuusiddwako obulabe buno, era akyuse emitima gy’abo abeenyigira mumuze guno. Naffe ffenna tufe kubantu baffe abatuusiddwako obuzibu buno. Tubabudeebude era tubawe byebeetaaga okusobola okutandika obulamu obupya,” Ssabasumba bweyategeezezza.

Yabadde kumukolo ogw’okusabira eggwanga n’ensi yonna okuwona ekizibu ky’okukusa abantu, ogw’abadde ku Sharing Youth Centre e Nsambya, mu Divizoni y’e Makindye ku Lwokutaano nga September 12.

Omukolp guno ogubeerawo buli mwaka gw’ategekeddwa ab’eggwandisirizo lya Klezia Katolika e Nsambya, ngabakolaganira wamu ne minisitule y’ensonga ez’omunda, n’ebitongole by’obwannakyewa eby’enjawulo. Okusaba kuno kwetabiddwako n’ab’enzikiriza endala okw’abadde Abakurisitaayo, Abasodokisi, Abalokole, Abasiraamu, n’aba Bahai.

Amyuka omukwanaganya w’entereeza z’okutangira ekikukusa bantu mu minisitule y’ensonga ez’omunda, Basalirwa Kigenyi Derek y’akakasizza abantu nti gavumenti efunvubidde okulwanyisa ekikukusa bantu, era nga egenda kwongera okubangula abanoonyereza baayo, n’abasazi b’emisango.

Ate omukungu wa minisitule  alondoola okuyingira n’okufuluma kw’abantu ku nsalo z’eggwanga, Arineitwe Prosper y’asabye Bannauganda obutasaagira munsonga y’akikukusa bantu kubanga obumenyi bw’amateeka buno ddala weebuli era bukosezza bangi.

Ssenkulu wa John Paul II Justice and Peace Center, Alfred Avuni, n’omuwandiisi w’akakiiko k’Abepiskoopi ba Uganda akakola ku butume bw’Abakristu Obukristu, Fr. Fred Tusingire baasabye wabeewo okukwatiza wamu, wakati w’abantu ssekinnoomu, abakulembeze b’eddiini ez’enjawulo, ebibiina by’obwannakyeewa, n’abantu bonna ab’omwoyo omulungi abali mukulwanyisa ekikukusa bantu,

okulwanyisa ekibba Baana

okulwanyisa ekibba Baana

Kkwaya ez’enjawulo okwabadde Good Samaritan Choir of Sharing Hall Nsambya, St. Egidio School of Peace (Muyenga) Children’s Choir, n’abaana Bannakizito,zaasanyusizza abantu.

Omukolo gwetabiddwako n’abavubuka abaanunulwa mubusibe oluvannyuma lw’okukukusibwa, abeegattira mukibiina kyabwe ekya Mwagale Foundation.

 

Emikolo gy’atambulidde kumulamwa ogugamba nti: Ekikukusa bantu bumenyi bw’amateeka obuteeketeeke, twekembe tumalewo okunyunyuntibwa.