Abavubuka ba ghetto bayisizza ebivvulu nga bajaguza amazaalibwa ga Pulezidenti
ABAVUBUKA ba Ghetto n'abakulembeze ba NRM mu munisipaali ye Nansana bayisizza ebivulu nga basabira n'okujagulizaako Pulezidenti Museveni amazaAlibwa ge agemyaaka 81
Aba Ghetto nga bajaguza amazaalibwa ga Museveni
By Kiragga Steven
Journalists @New Vision
ABAVUBUKA ba Ghetto n'abakulembeze ba NRM mu munisipaali ye Nansana bayisizza ebivulu nga basabira n'okujagulizaako Pulezidenti Museveni amazaAlibwa ge agemyaaka 81.
Aba Ghetto nga bakuza amazaalibwa ga Pulezidenti Museveni
Bano nga bakulembeddwamu Hamza kyeyune amanyiddwa nga Rasta Bag bayisizza ebivvulu okwetoloola akatale ka katangawuzi e Nansana era ne basiima pulezidenti olwe birungi byakoledde eggwanga.
Ye ssentebe wa bavubuka ba NRM mu Nansana Happy John Bagenda wano wasabidde abavubuka okubeera obumu era banonyeze pulezidenti museveni akalulu mu buli mbeera awatali kwemulugunya.
Aba Ghetto nga bajaguza amazaalibwa ga Museveni
Ate Rdc wa Nansana Charlse Lwanga abadde omugenyi omukulu asiimye pulezidenti museveni olw'obukulembeze obulungi n'asaba abatuuze okwenyigira mu pulojekiti za gavumenti ssaako ebintu ebiyamba okwongera kunyingiza yaabwe.
RDC Lwanga ajjukizza abavubuka obuvunanyizibwa bwabwe naddala mu kukuuma emirembe nga bewala ebikolwa by’efujjo ebiyinza okubasuula mu katyabaga.