Abantu 400 bebaweereddwa obujjanjabi mu lusiisira lw’ebyobulamu olwategekeddwa eddwaliro ly’Abasodokisi e Namungoona

ABANTU 400 bebawereddwa obujjanjabi mu lusisira lw’ebyobulamu olwategekeddwa eddwaliro ly’Abasodokisi e Namungoona.

Nalubega (wakati) ng'aliko byabulira omu ku basawo (ku kkono) okuyamba ku mulwadde Ali ku ddyo
By Dickson Kulumba
Journalists @New Vision

ABANTU 400 bebawereddwa obujjanjabi mu lusisira lw’ebyobulamu olwategekeddwa eddwaliro ly’Abasodokisi e Namungoona.

Bano baajjanjabiddwa endwadde ezitali zimu okuli omusujja gw’ensiri, okukebera endwadde nga mukenenya n’okubuulirira, amagulu, n’endala.

Gider Nalubega Musisi nga y’akulira Holy Cross Orthodox Mission Hospital e Namungoona yateegeezezza nga bwebaategese olusisira luno okujaguliza awamu ne Bannayuganda okujaguza olunaku lw’eddwaliro olw’okusukkulumya Omusaalaba omutukuvu Yesu kweyafiira.

Ku mukolo guno gavumenti yasabiddwa esabiddwa okuteeka eddagala mu malwaliro agali okumpi n’abantu okwongera okutumbula eby’obulamu bwaabwe.

Okusaba kuno kwakoleddwa Omutongole wa Kabaka atwala ekyalo ky’e Namungoona, Samuel Ssegujja bweyabadde alambula olusisira luno.

Nalubega Musisi yeebazizza abantu okujja mu bungi n’abasaba okukozesa obulungi eddagala eribawereddwa, mu bipimo ebibawereddwa ate n’okutambulira kweebyo ebibasomeseddwa mu kwekuuma nga balamu.

Betty Luberenga, omu ku bafunye obujjanjabi yateegeezezza nga bwatawanyizibwa amagulu nga yayagadde ajje akeberebwe kubanga tayagala kusirikira bulumi ng’abantu abamu bwe balinda okugonda nebalyoka bajja mu ddwaliro.

Olunaku lw’omusaalaba omutukuvu lukuzibwa buli lwa September 14 okwetoloola ensi yonna.