Kavc yeggyeeko ekikwa mu mpaka za Volleyball

Kiraabu ya KAVC ey’abasajja yeemazeeko ekikwa bw’ewangudde empaka za NSSF – KAVC International Volleyball Tournament ze bategeka buli mwaka wabula nga baakoma okuwangula mu 2018.

Aba Kavc nga basanyukira ekikopo
By Silvano Kibuuka
Journalists @New Vision

Abawangudde eza NSSF – KAVC Volleyball

Abasajja: KAVC (Uga) 3 Equity (Ken) 1

Abakazi: APR (Rwa) 3 Police (Rwa) 2

Corporate winer: Centenary Bank

Ab’amasomero:

Abalenzi: Proline Academy (U-12 and U-14)

Abawala: Sunrise (U-12 and U-14)

Kiraabu ya KAVC ey’abasajja yeemazeeko ekikwa bw’ewangudde empaka za NSSF – KAVC International Volleyball Tournament ze bategeka buli mwaka wabula nga baakoma okuwangula mu 2018.

Abazanyi nga bafuna emidaali gyabwe

Abazanyi nga bafuna emidaali gyabwe

Zaabadde za mulundi gwa 27 nga bazitegeka okujjukira abatandisi ba kiraabu ya volleyball eya KAVC abaafa era nga kati zaakuuka za nsi yonna.

Kiraabu 29 okuva mu mawanga okuli Kenya, Rwanda, Burundi, South Sudan ne Ghana nga kw’otadde Uganda ze zeetabye mu mpaka zino ezaatanndikidde mu bibinja bina.

Zeetabiddwamu ne ttiimu z’ebitongole wamu n’amasomero ga pulayimale.

Okuutuuka ku fayinolo, KAVC yasoose kumegga KCCA nayo eya Uganda ku luzannya lwa semi ku bugoba 3-2, so nga Equity nayo yasoose kujjamu ginnewaayo eya Kenya, Chema ku bugoba 3-0.

David Okello owa KAVC aguzannyira ensimbi mu ggwanga lya Indonesia ye yasinze okulinnyisa omutindo gwa ttiimu eno era nga yalondeddwa ku buzannyi bw’empaka era nga yatudde n’ekikopo eky’eyasinze okuteekawo ennumba mu basajja.

Volleyball

Volleyball

“Twakyetegekedde kubanga tubadde n’ennyonta yaakyo era Katonda n’atukwatirako,” Okello era eyali mu ttiimu eyasemba okukiwangula mu 2018 bwe yategeezezza.

Ye akulira kiraabu ya KAVC, Gimei Nagimesi yategeezezza nti obuwanguzi baabwetegekera n’okuleeta abazannyi abaavudde mu liigi z’ebweru nga tebanafuna ndagaano.

“Twaleese Okello ne Allan Ejiet abadde aguzannyira e Rwanda ne badda ku butaka okutaasa ttiimu yaabwe kubanga baabadde tebanazza buggya ndagaano zaabwe gye bazannyira,” Nagimesi bwe yategeezezza.

Ye omutendesi David Okot aba Equity yasigadde abaasimula bugolo.

“Wadde nga twabadde twetegese era nga tuli bamalirivu, aba Equity babo balungi kubanga tebandituuse ku fayinolo nga bangu. Wabula nsiima abazannyi baffe n’abawagizi abatuwadde essanyu,” bwe yategeezezza.

Mu bakazi, ttiimu y’abajaasi eya Rwanda eyitibwa APR yeddizza ekikopo omulundi ogw’okubiri awatali kusalako nga yasoose kumegga ginnewaayo eya Rwanda ku bugoba 3-2.

Kavc nga bagikwasa ekikopo

Kavc nga bagikwasa ekikopo

KAVC ey’abakazi yakutte kyakusatu. Akulira obwa kituunzi ku kitongole kya NSSF ekiteeka ensimbi mu mpaka zino, Teddy Arimi yasiimye aba KAVC okutegeka obulungi empaka era n’asuubiza nti bajja kwongeramu ensimbi.

“Zibadde ku mutindo gwa waggulu era tujja kuziteekamu ensimbi n’omwaka ogujja,” bwe yategeezezza.

Abawanguzi baafunye ceeke ya 10,000,000/= mu basajja n’abakazi.

Ab’okubiri n’abokusatu buli bamu baafunye 80,000,000/= ne 50,000,000/=.

Bbo aba kiraabu ya REG okuva e Rwanda abawangula mu basajja omwaka oguwedde tebaavudde mu kibinja.