Olwaleero akakiiko katandise n'abesimbyewo okuvuganyiza ku kaadi y'ekibiina mu Wakiso ne West Nile era abavuganya buli omu obwedda amala okusunsulibwa avaayo awera kuvaayo na buwanguzi olw'okuyitira waggulu ebibuuzo ebibabuuziddwa.

Matia Lwanga Bwanika naye asunsuddwa
Abasunsuddwa kuliko abegwanyiza eky'omubaka wa Nansana munisipalite okuli Brasio Zambali Mukasa, Fred Luyinda, Amos Kuuku, Stephen Kaweesa.
Busiro East Kuliko Medard Lubega Sseggona, mmeeya wa Kyengera town council Mathias Mulumba, Emmanuel Magoola.
Busiro North okuli Ronald Ssemaganda, Kisiita Bukenya.
Busiro south Matia Lwanga Bwanika, Ssekigozi Stephen, Julius Sserwanja, Charles Matovu,
Eky'omubaka omukazi owa Wakiso kuliko Juliet Nanteza, Betty Ethel Naluyima, Patience Nantege.
Makindye Ssabagabo David Sserukenya,
Kyadondo East, Nkunyingi Muwada, Ali Moses Ddamulira,
Kira munisipalite George Musisi, Jimmy Lukwago.