Gavumenti etandise okunoonyereza ku bya Bannayuganda abatundibwa ebweru w'eggwanga

GAVUMENTI etegeezezza nga bw'etandise okunoonyereza ku bigambibwa nti waliwo Bannayuganda abatwalibwa wabweru w’eggwanga okukola ne bamaliriza ng'abatutte abawadde mirimu gya kubatunda.

Gavumenti etandise okunoonyereza ku bya Bannayuganda abatundibwa ebweru w'eggwanga
By Edith Namayanja
Journalists @New Vision
#Amawulire #Kubatunda #Gavumenti #Kutundibwa #Kunoonya #BBC

GAVUMENTI etegeezezza nga bw'etandise okunoonyereza ku bigambibwa nti waliwo Bannayuganda abatwalibwa wabweru w’eggwanga okukola ne bamaliriza ng'abatutte abawadde mirimu gya kubatunda.

Bino byogeddwa minisita omubeezi ow’amakolero, David Bahati oluvannyuma lw’omumyuka wa sipiika, Thomas Tayebwa okwemulungunya ku katambi ke yalabye ku mukutu gwa BBC nga kalaga engeri Bannayuganda gye bakukusibwamu.

Omumyuka wa Sipiika Tayebwa ng'annyonnyola.

Omumyuka wa Sipiika Tayebwa ng'annyonnyola.

Tayebwa agamba nti akatambi k'abadde kalaga abamu ku bantu bano abatuuka n’okufa ne bazIikibwa mu bifo awazIikibwa abantu abataliiko baabwe n'asaba gavumenti okunoonyereza ku nsonga eno.

Omubaka omukyala owa disitilikiti y’e Tororo, Sarah Opendi ategeezezza nti ensonga ey’okutunda Bannayuganda esaanidde okutunulwamu n’agamba kye kiseera palamenti eyise ennongoosereza mu tteeka ly’abakozi erya Employment amendment bill wamu n'ebbago lya sexual offences bill.

Bahati mu kwanukula ategeezezza palamenti nti akatambi kano we kaafuluma, katikkiro wa Uganda Robinah Nabbanja yalagira minisita akwatibwako okunoonyereza ku byakalimu nga alipoota bw'enaabeera emaze okuweebwa kabineeti , palamenti yaakutegeezebwa ku nsonga eno.