NRM eraze entegeka z’okuddamu okulonda kw’abavubuka

AKAKIIKO k’ebyokulonda aka NRM kafulumizza enteekateeka ezigenda okugobererwa okuddamu okulonda kw’olukiiko olw’oku ntikko olw’abavubuka.

Fred Omachi ng’annyonnyola.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

AKAKIIKO k’ebyokulonda aka NRM kafulumizza enteekateeka ezigenda okugobererwa okuddamu okulonda kw’olukiiko olw’oku ntikko olw’abavubuka.
Okulonda kwakubaawo ku Lwokuna luno nga September 18, ng’ebifo by’abavubuka ebigenda okulondebwako kuliko ssentebe w’olukiiko era omukisse ku lukiiko olufuzi olw’oku ntikko olw’ekibiina olwa ‘CEC’, abamyuka baabwe mu buvanjuba, bugwanjuba, mu bukiikakkono, mu Buganda kwossa ne mu Kampala.
Abalala abagenda okulondebwa bebagenda okukwatira NRM bendera ku bifo by’ababaka b’abavubuka .
Mu lukung’aana lwa bannamawulire olwatuuzidwa ku kitebe ky’akakiiko ka NRM ak’ebyokulonda mu Kampala omumyuka w’akulira akakiiko kano, Fred Jachan Omach yategeezezza nti ku mulundi guno abavubuka sibakukungaanira ku kisaawe Kololo wabula baakulondera mu disitulikitti zaabwe.
Kominsona w’akakiiko k’ebyokulonda Dr. James Kinobe yannyonnyode nti okulonda kujja kutandika ku makya, nga kugenda kubeera mu lukale nga kwa kusimba mu mugongo n’okubala kujja kubeera ku mizindaalo okwewala omuntu yenna okwekwasa nti abbiddwa.
Okulonda kw’abavubuka okuddibwamu kyaddirira okusazibwamu kw’obuwanguzi bwa Collins Tanga mutabani wa Dr. Tanga Odoi akulira akakiiko ka NRM ak’ebyokulonda.
Akalulu kano kaasazibwamu akakiiko ka bannamateeka akaatekebwawo Pulezidenti Museveni okuwulira okwemulugunya kwa bannakibiina abaawangulwa mu kamyufu abali tebamatidde na byava mukulonda era nga abali ku mbiranye ennyo ku kifo ky’abavubuka ne Tanga abakulemberwamu Brenda Kiconco be beekubira enduulu mu kakiiko kano ne baloopa nti okulonda kwalimu ebirumira bingi