Abazannya emizannyo gy'abaliko obulemu basiibuddwa okugenda mu mizannyo gy'ensi yonna

Abazannya emizannyo gy'abaliko obulemu basiibuddwa okugenda mu mizannyo gy'ensi yonna 

Bumaali Mpindi omubaka w'abaliko obulemu ng'asiibula abaana
By Julius Kafuluma
Journalists @New Vision

Ab’emizannyo gy'abaliko obulemu 13 basiibuddwa, bagenze mu gya nsi yonna.
Ekibiina ekiddukanya emizannyo gy'abaliko obulemu ekya national paralympic committee kisiibude bannabyamizannyo 13 abagenda mu mawanga agenjawulo okwetaba mu mizannyo okuli owukuga, okusitula obuzito, okudduka n'okukuba obusaale. 
Mu kuwuga Husna Kukundakwe ne Condoleza Nakazibwe bebasiibuddwa nga bano bagenze mu ggwanga lya Singapore mu mpaka zokuwuga ezensi yonna ezitandika nga 20 zikomekkerezebwe nga 27 omwezi guno.  
Abasituzi bobuzito bagenze misiri nga bano kuliko Dennis Mbaziira owobuzito bwa kilo 88, Rebecca Zawedde owa 86kg, Ismail Ssebaggala owa72, ne Janet Nakayobyo owa kilo 61. 

Bumaali Mpindi omubaka w'abaliko obulemu ng'asiibula abaana

Bumaali Mpindi omubaka w'abaliko obulemu ng'asiibula abaana


Ekibinja kyabaddusi kyekisinga obunene nga kino kirimu abaddsui mukaaga okuli Fred Masisa, David Emong, Jonas Oryema, Kaddu Venswa, Prisca Aciro, Fred Oija, ne Anna Anzoa agenda okukanyuka olunyago. Bano bagenze mu gganga lya buyindi ate nga ye Ismail Ssebaggala agenda mu mpaka za busaale ezigenda okutojjera mu ggwanga lya south korea okuva nga 21 okutuuka nga 28 omwezi guno.
President wekibiina kino hajji mpindi Bumaali yeyasiibudde bannabyamizannyo bano era nga yabakuutidde okukola namaanyi okufuna obubonero obubongerayo mu mizannyo gya Olympics negyamawanga agaaliko amatwale ga bungereza egya commonwealth. “tusuubira okutwala ekibinja ekiwerako mu mizannyo gya Olympics egya 2028 nolwensonga eyo bano abagenda bali ku kigezo okulaba nga bakola bulungi okubeera ku tiimu egenda mu amerika”. Bumaali bweyagambye.

Basimbuddwa

Basimbuddwa


Wabula bumaali yeekokodde ebbula lyensimbi nebikozesebwa ebyetaagisa mu mizannyo gyabaliko obulemu byagambye nti bibalemesa okukola obulungi nga bagenze mu mizannyo egiri ku mutendera gwensi yonna.
Ono kati ayagala gavumenti okwongera ensimbi eziweebwa bannabyamizannyo abaliko obulemu olwebyetaago ebyenjawulo ebiba byetaagisa okwawukanako nebyo ebyabannabyamizannyo abalala