Abantu abasoba mu 800 bebasunsuddwa okuvuganya ku bifo eby'enjawulo mu Disitrict ye Mukono

ABANTU abasoba mu 800 be baakasunsulwa okuvuganya ku bifo eby’enjawulo ku mutendera gwa ba ssentebe ne ba kkansala b’amagombolola nga kwogasse ne zi tawuni kanso ez’enjawulo mu disitulikiti y’e Mukono.  

Kabugo ng'ayogera
By Joan Nakate
Journalists @New Vision

ABANTU abasoba mu 800 be baakasunsulwa okuvuganya ku bifo eby’enjawulo ku mutendera gwa ba ssentebe ne ba kkansala b’amagombolola nga kwogasse ne zi tawuni kanso ez’enjawulo mu disitulikiti y’e Mukono.

Bw’abadde awa alipoota efundikira wiiki eno kw’abo abasunsuddwa, akulira eby’okulonda Mark Muganza agambye nti abeewandiisizza bakozesezza bulungi obudde obw’abaweebwa era nga bano basobodde n’okutuukiriza ebisaanyizo byonna ebyabassibwaako akakiiko k’e by’okulonda nga kwogasse n’amateeka gonna.

“Tewali muntu yakwatiddwa poliisi yadde okugobwa olw’obutaba na mpapula era tewali akubye kampeyini ate tewali azze na luseregendo lwa motoka okwewandiisa”Muganzi bw’anyonyodde.

Kabugo ng'ayogera oluvannyuma lw'okusunsulwa

Kabugo ng'ayogera oluvannyuma lw'okusunsulwa

Omu kw’abo abana abeepikira eky’obwa ssentebe w’eggombolola y’e Goma asunsuddwa ye Hannington kabugo akwaatidde ekibiina kino bendera agambye nti wa kukozesa omukisa gw’amakolero amangi agali mu Namanve Industrial Park okulaba nga gawa abavubuka emirimu.

Mu birala by’asuubizza okukola kwe kuyoola kasasiro,okukola ku by’obulamu ne by’enjigiriza ng’addaabiriza amasomero ga gavumenti n’amalwaliro gaayo okubaamu eddagala.

Wano era waasinzidde n’asaba banna Mukono ku  mulundi guno okuddiramu ekibiina kya NRM nga babassa mu buyinza basobole okubakolera.

Abalala abaamala edda okusunsulwa okuvuganya ku kifo kino kuliko Munnakibiina kya DP Joseph Wamala, Munnakibiina kya NUP Kyasa Herbert ne Haj.Lukeman Sseggayi atalina kibiina kwe yajjidde