Tikitooka agambibwa okugenda ku mukutu gwe n'abika omubaka wa Mawokota South Hon. Yusufu Nsibambi nti afudde akwatiddwa.
Nassif Jingo, y'akwatiddwa ku bigambibwa nti omu ku bavuganya omubaka Nsibambi, yamuguze shs 100,000/ okubika Nsibambi.
Kitegeezeddwa nti amangu ddala nga bakamubika, Nsibambi yagguddewo omusango ku poliisi ne bakwata Jingo ng'okubuuliriza kugenda mu maaso.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala, Patrick Onyango, agambye nti, bamuguddeko omusango gw'okukozesa obubi komputa.