Omuvubuka agambibwa okutemako nnamukadde obulago n'fa poliisi emukutte

Bibadde ku kyalo Magonga mu muluka gw'e Kiwafu mu Ggombolola y'e Kimmenyedde mu disitulikiti y'e Mukono , bwe bakutte Henry Onyango 25  ku bigambibwa nti asse Christine Negesa 90.

Omuvubuka agambibwa okutemako nnamukadde obulago n'fa poliisi emukutte
By Godfrey Kigobero
Journalists @New Vision
#Amawulire #Nnamukadde #Poliisi #Kukwata

OMUVUBUKA agambibwa okukkakkana ku nnamukadde n'amusalako obulago n'okumutemaatema,  akwatiddwa abatuuze.

Bibadde ku kyalo Magonga mu muluka gw'e Kiwafu mu Ggombolola y'e Kimmenyedde mu disitulikiti y'e Mukono , bwe bakutte Henry Onyango 25  ku bigambibwa nti asse Christine Negesa 90.

Okumukwata, kiddiridde abatuuze okumulengera ng'ava mu nnyumba y'omukadde adduka, nti kyokka bwe balingizza, kwe kuzuula Negesa mu kitaba ky'omusayi nga mufu.

Omwogezi wa  poliisi mu Kampala Patrick Onyango, ategeezezza nti basobodde okuzuula ekiso omutemu ky'akozesezza n'emu ku ngatto ye gy'asuddewo ng'adduka.

Agasseeko nti omulambo gw'omugenzi, gutwaliddwa mu ggwanika ly'eddwaliro ly'e Kayunga ng'okubuuliriza kugenda mu maaso.