Aba Uganda Tourism Board wamu ne Uganda Wildlife Authority bongedde amaanyi mu kukuuma enkula

Aba Uganda Tourism Board, Uganda Wildlife Authority n'ebitongole ebirala batandise kaweefube w'okutuuma enkula amannya kyebayise Rhino naming ku lunaku lwa World Rino day era nga omukolo omukulu gutegekebwa ku Ziwa Rhino sanctuary esangibwa e Nakasongola.

Aballambuzi nga babannyonnyola amateeka gebalina okugoberera okusobola okulba enkula
By Godfrey Ssempijja
Journalists @New Vision

Aba Uganda Tourism Board, Uganda Wildlife Authority n'ebitongole ebirala batandise kaweefube w'okutuuma enkula amannya kyebayise Rhino naming ku lunaku lwa World Rino day era nga omukolo omukulu gutegekebwa ku Ziwa Rhino sanctuary esangibwa e Nakasongola.

Abamu ku banadiini nga belolera kunkula e Nakasongola mu Ziwa Rhino sanctuary

Abamu ku banadiini nga belolera kunkula e Nakasongola mu Ziwa Rhino sanctuary

Dr James Musinguzi akulira UWA agambye nti omukolo guno gwegusoose era nga bakutuuma Enkula 17 ento ekintu kyagambye nti kirungi kubanga kyakuyamba okulondoola , okukuuma n'okuyambako okwongera ku muwendo nga zino zibadde zaggwaawo mu Uganda naye mu kiseera kino Ziwa Rhino sanctuary elina Enkula 48 okuva ku nkula 6  nga omugatte Uganda erina Enkula 50 era 2 zisangibwa mu Uganda Wildlife education conservation center.

Ono agambye nti bali mukaweefuba  okukakasa nti eby'obulambuzi byongera okukula naye nti kino tekiyinza kukolabwa bantu bamu wabula buli muntu , agenze mumaaso nategeeza nti balina enteekateeka ya myaka 10 okukakasa nti bazaawo enkula naye kino kyakukolebwa nga batandika okutwaala enkula zino mu kuumiro ekimanyibwa nga Ajai wild reserve gyebagenda okutwaala enkula 20 oluvanyuma batwaale mu makuumiro amalala okuli .

Ategeezeeza nti batandiisewo tekinologiya ow'omulembe agenda okuyamba okulondoola amakuumiro gona naye nga office Siri Kampala kwosa n'okuzimba ebikomera ku makuumiro gonna okwongera okukuuma ebisolo byona.

Enkula nga bwefaanana

Enkula nga bwefaanana

Akulira UTB Juliana Kagwa ku mukolo guno agambye nti Uganda elina kusooka kuteeka manyi mangi mu kukuuma ebisolo bino olwo ebyobulambuzi byakukula n'olwekyo Enkula zirina okwongera okukula , ono agambye nti omulimu gwokukuuma obutonde , ensolo mulimu gwa buli muntu nasembayo nga ayongera okusaba ebitongole nabantu abalinamu Sente okubakwatirako nga bawaayo sente okutuuma enkula zino amanya  era bakufuna omukisa okuzirondoola  .

Lisa Chesney Ambassador wa UK agambye nti musanyufu nnyo okuba nga ali munsonga yokutuuma Enkula zino kubanga za mugaso nnyo mu byobulambuzi era nti bakwongera okuteeka ensimbi munteekateeka eno era nakuutira abantu abalina omuze gwolutta ebisolo nadala enkula kwosa nebirala bakola kikyamu nnyo , Ono assembyeyo nga akuuma enkula elinya lya PEARL  ekyongera okukakasa Uganda nti lyekula.

Lisa Chesney omukungu we Bungereza , Dr James Musinguzi akulira UWA, Minister we by'obulambuzi Martin Mugara wamu ne Hon Tom Butime nga bali mu Zziwa Rhino sanctuary awakuumibwa Enkula.

Lisa Chesney omukungu we Bungereza , Dr James Musinguzi akulira UWA, Minister we by'obulambuzi Martin Mugara wamu ne Hon Tom Butime nga bali mu Zziwa Rhino sanctuary awakuumibwa Enkula.

Omugenyi omukulu ku mukolo guno Hon Muluuli Mukasa akiikiridde omukulembeze w'eggwanga era asomye obubaka bwe agambye nti ekiyambye okukulakulanya eby'obulambuzi kivudde kukuzimba enguudo engi , emirembe era Kati ebyobulambuzi byebimu ku bisinga okuyingiza ensimbi mu Gwange ate nga bikoze kyamanyi okuwa abantu emirimu nokukyuusa obulamu bwa bantu , wano wasinzidde nasaba abagagga nadala abavugirizi okuva emitala wa Uganda okuteeka sente zabwe mu Uganda kubanga embeera nungi .

Ayongede nagamba nti Gavumenti nekyayongera amanyi okutereza internet , okuzimba ebisulo ebirungi abalambuzi mwebasobola okusula singa bagenda okulambula kwosa nokuteeka obupande kumakubo nokutereza obukuumi mumakuumiro ge bisolo kyagamba nti kyakuyamba nnyo okukulakulanya ebyobulambuzi mugwanga .