ABATUUZE mu zzooni ya Kibira Cell 'B' e Masajja mu munisipaali ya Ssaabagabo Makindye e Wakiso, bazzeemu okulaajanira be kikwatako , okubayamba ku mbwa ezifuuse ez'obulabe mu kitundu ekyo.
Kigambibwa nti ezimu ku mbwa zino, ezituuse n'okuluma abantu, bannyini zo baazireka mu kitundu ekyo mu kiseera ekitongole kya UNRA bwe kyasasula n'okumenya abantu mu kitundu awaayita oluguudo lwa Jinja Expressway.
Ssentebe wa LC1 mu kitundu ekyo Samuel Wasswa Luwandaga, ategeezezza nti abaana abawerako n'abantu abakulu, embwa zizze zibaluma nga n'abalala, batya okukeera okugenda ku masomero n'okukola.
Asabye abakulembeze ku ggombolola ne ku munisipaali, okubayamba bazitege obutwa , abantu basobole okuwona obunkenke, kwe batambulira mu kiseera kino.
Agasseeko nti ezimu zikung’aanira ne zizaalira mu kifo omuli kasasiro ayiiribwa mu bitundu ebyo.