Pulezidenti wa NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu Bobiwine ayuugumizza disitulikiti y’e Bugweri gy’akubye olukung’aana lwe olusoose leero.
Abawagizi ba Kyagulanyi e Bugweri
Luno lubadde ku kyalo Buwoya mu ggombolola y’e Bukanga ng'ono yeeyamye okulwanyisa obwavu naddala mu bavubuka, okutereeza eby’obulamu n'ebyenjigiriza, ekibba ttaka, bbeeyi y'ebikajjo n'okubbulula eby'amakolero n'obulimi.
Omu ku bawagizi ba NUP ng'essanyu libula okumutta.
Kyagulanyi yeegattiddwako abakulembeze ab'enjawulo okuli akwatidde Nup kkaadi ku kifo ky'omubaka wa disitulikiti eno, ababaka ba palamenti okuli Erias Nalukoola, Robert Ssekitoleko, Betty Ethel Naluyima n'abalala.