Munna Conservative Party, Joseph Elton Mabirizi asinzidde ku lukung'aana lw'akubye e Kikuube, mu ggombolola y'e Buhimba n'asuubiza abalonzi okusasulira abayizi ba yunivaasite ebisale bya bitundu 60 ku 100, ku ssente ze balina okuwa nga basoma.
Mabiriizi ng'akakasa abalonzi be bwe yabadde ayogera.
Ategeezezza nti abazadde bayita mu bugubi okufuna ensimbi zino kubanga zibeera nnyingi ddala ne kivaako abasinga okutuula awaka ne batasoma olw'ebisale.
Mmotoka eyamuleese ssaako omuserikale omu ku bamuwa obukuumi.
Abawagizi be bamukooneddemu bw'ayongedde okubakakasa nga bw'agenda n'okutumbula ebyobulimi nga babawa ttulakita n'ebyuma ebyanguyaako emirimu gyabwe basobole okufuna ssente ezeegasa n'okugatta omutindo ku birime byabwe.