ABASAJJA babiri abagambibwa okusangibwa n'eddagala lya gavumenti nga balitembeya poliisi ebakutte

ABASAJJA babiri abagambibwa okusangibwa n'eddagala lya gavumenti nga balitembeya poliisi ebakutte

Erimu ku ddagala ely'akwatiddwa
By Godfrey Kigobero
Journalists @New Vision

ABASAJJA babiri abagambibwa okusangibwa n'eddagala lya gavumenti nga balitembeyeza mu katale e Buduuda, poliisi ebakutte.

Dison Makwa 55 nga yeyita paster, omutuuze w'e Namangolo mu muluka gw'e Bufukhula mu Ggombolola y'e Bushiribo e Buduuda ne munne Abdalah Kitakufe 49 omusuubuzi nga mutuuze w'e Nabweya A cell e Mbale , bebakuumirwa ku poliisi y'e Buduuda ng'okunoonyereza kugenda mu maaso.

Eddagala ely'akwatiddwa

Eddagala ely'akwatiddwa

Kidiridde ababiri bano, kubigambibwa nti basangiddwa mu katale komubuulo e Bukigai nga batembeeya eddagala lino ku bbeeyi entono ddala , abatuuze kwe kutemya ku poliisi eyabakutte .

Kitegeezeddwa nti mu kwaza amaka gaabwe, bazuddeyo bokisi z'eddagala lya gavumenti endala nga lirambiddwa era nga mu kiseera kino, babuuzibwa akana n'akataano.

Omwogezi wa poliisi e Mbale, Rogers Taitika, agambye nti bano bombi, sibasawo era tebalina bukugu mu ddagala, nga baguddwako emisango egiwerako , ng'omuyiggo gw'abalala abali emabega w'obubbi bw'eddagala lya gavumenti, gugenda mu maaso.