Omusirikale wa poliisi omu afiiriddewo n'abalala basatu ne balumizibwa mu kabenja akagudde ku luguudo oluva e Masaka okudda e Mutukula.
Akabenje kano kabaddewo ku ssaawa nga Kkumi nga bukya, ku kyalo Kasanvu ku Kyotera Mutukula rd, Tuleera Benz ebadde eva e Mutukula, bw'etomedde e mmotoka ya patrol nnamba UG 2902914 Toyota Land cruiser omu n'afiirawo.
Afudde ye Cpl Tonny Odyeke ate banne abalala 3 okuli Alex Wasswa, Cpl. Dennis Obonyo, ne Muhimbise Kabode, batwaliddwa mu ddwaaliro e Masaka okufuna obujanjabi.
Omwogezi wa poliisi e Masaka Twaha Kasirye, agambye nti dereeva wa tuleera Joseph Brown Mishall akwatiddwa nti kyokka nga talina na pamiti