AMYUKA ssentebe wa NRM ow’okubiri omukyala, Rt. Hon Anita Among akunze abantu mu disitulikiti y’e Bugiri okuyiira pulezidenti Museveni obululu eddembe, enkulaalakulana byeyongere mu ggwanga.
Omu ku basanyusa ng'aziniramu abawagizi e Bugiri
Among akutte olunaku olw’okubiri okuwenjeza mukama we Museveni akalulu era nga leero amakanda agasimbye ku ssomero lya Bulume P/S mu Busowa TC mu disitulikiti y’e Bugiri.
Gravity omutujju ng'acamula ab'e Bugiri
Ono ategeezezza abeeno nti abantu mu bitundu by’omu mambuka balinga mu ntalo nga Museveni tannajja mu buyinza wabula nga kati bw’otuukayo amasero, enguudo n’amalwaliro agawonya abakyala okuzaalira mu nsiko kw’okomya amaaso.
Sipiika Among nga yeegatiddwako banna NRM okukunga ab’e Bugiri okulonda Museveni
Agambye nti abantu b’e Teso mu kalulu akagwa bayiira pulezidenti akalulu era naye n’abaddiza nga alonda baminisita ku kabineeti ye nga n’olwekyo ne Busoga bw’eba eyagala okuganyulwa mu kisanja ekijja erina kukola kye kimu.
Abawagizi b'ekibiina nga basanyufu nnyo okuzaama
Among bano abeebaziza olw’okuzira omulamwa gw’abwo bagambye nti baagala kucankalanya ddembe mu ggwanga n’agamba nti essuubi lyokka lye balina ery’obutebenkenvu kulonda Museveni.
Bano abategeezezza ku nsimbi gavumenti ze yafulumizza okubazimbira eddwaliro lya Referral era n’agattako nti n’oluguudo lwa Jinja Express lwakuyambako ku munyigo ku luguudo lwa Jinja ekigenda n’okuleeta enkulaakulana.
Abamu ebintu baasazeewo kubikwatira ku kkamera.
Ssaabawandiisi wa PLU, David Kabanda asabye abantu b’eno nti ssinga baagala okuganyulwa ennyo mu PDM mu kisanja ekijja balina kulonda Museveni ate nga bwe babaako byebagala abakolere , bamuyiire obululu olwo bamubanje.