Ab'ekitongole kya Allied Health Professional Council beetegekera kujuguza lunaku lwabwe mu nsi yonna

ABASAWO abeegattira mu kibiina kya Allied Health Professional Council, baakwegatta ku bannaabwe mu nsi yonna okujaguza olunaku lwabwe Olw'okubiri lwa wiiki ejja nga  14 omwezi guno. 

Prof. John Charles Okiria ,ssentebe w'olukiiko olufuzi ng'anyonnyola mu lukunga'ana lwa bannamawulire
By Patrick Kibirango
Journalists @New Vision

ABASAWO ab'ekitongole kya Allied Health Professional Council, baakwegatta ku bannaabwe mu nsi yonna okujaguza olunaku lwabwe Olw'okubiri lwa wiiki ejja nga  14 omwezi guno.

EKITONGOLE kino mu minisitule ye by’obulamu ki Allied Health Professional Council kivunanyizibwa, okutegeka ebisomesebwa n’okulondoola emirimu gya basawo  basabye Bannayuganda obutatya kwekubira nduulu gye kiri ku basawo baakyo abakole emirimu mu ngeri etali ya bwesimbu. 

Dr. Bernard .S.Bagaya ng'alambulu ku dyo ye Prof.  John Charles Okiria  ssentebe w'olukiiko olufuzi.

Dr. Bernard .S.Bagaya ng'alambulu ku dyo ye Prof. John Charles Okiria ssentebe w'olukiiko olufuzi.


Ssentebe w’olukiiko olufuzi mu kitongole kino, Prof John Charlse Okiria, agamba nti waliwo amateeka agafuga n’okukangavvula abasawo ababa batatuukiriza buvunaanyizibwa bwabwe singa abantu baba batuukiridde ekitongole nga ye nsonga lwa omulwadde aba tafunye buweereza mu butuufu bwabwo ateekwa okwekubira enduulu mu kitongole.
Bino abyogeredde mu lukunga’ana lwa bannamawulire ekitongole lwekitegese ku woteeri Africana mu Kampala, okwanjula enteekateeka yakyo ey’okwegatta ku nsi yonna okukuza olunaku lwa basawo bano olukuzibwa nga buli October 14, era mu Uganda lugenda bagenda ku lukwatira ku Lira City Mayors’s Gardens Olwokubiri lwa wiiki eggya.
Mu Uganda lwakutambulira ku mulamwa ogugamba nti; Okwegatta okusobola okuwa abantu obujanjabi obutuufu era minisita webyobulamu Dr. Jane Ruth Aceng Ocero yagenda okuba omujaguzi omukulu.
Dr. Bernard. S.Bagaya amyuka ligesitula w’ekitongole kino, agamba nti kikulu nnyo abasawo mu malwaliro mu bitongole eby’enjawulo okwegatta ne basobola okuwa abantu obujanjabi obutuufu ye nsonga lwaki baasazeewo okulonda omulamwa guno.

Abamu ku basawo ababadde mu lukunga'ana lwa bannamawulire nga bawayaamu

Abamu ku basawo ababadde mu lukunga'ana lwa bannamawulire nga bawayaamu


Bagaya alambuludde nti abasawo abaggwa mu tuluba lya Allied Health Professionals bali biti 42 okugeza abakebera omusaayi,abakebera ‘sampo’ ezigyibwa ku bantu ng’omusulo, ababudabuda abafunye obuzibu ku bwongo, abakuba ebifaaananyi mu malwaliro n’abalala kyokka bano bangi mu malwaliro tebalabibwawo.
Nga ye nsonga lwaki mu nteekateeka y’ongera okumanyisa abantu bye bakola n’omugaso gwabwe basazeewo mu butongole okutandiika okwegatta ku banabwe mu nsi yonna okukuza olunaku lwabwe nga baakukikola buli mwaka.
Mu kugyaguza olunaku bagenda kwetaba mu bintu eby’enjawulo omuli; okukumba nga bayisa ebivvuulu, baakusiima banaabwe abakoze eby’ensusso okwo saako okuggulawo woofiisi y’e kitongole e Lira okwegatta kwezo 11 ezibaddewo mu ggwanga n’ekigendererwa eky’okusembereza abantu obuweereza