AMAGYE geegasse ku beekalakaasi mu Madagascar ne bavuunika gavumenti ya Pulezidenti Andry Rajoelina 51, eyakuttemu ebibye n’adduka nga yeetegula ekibabu.
Kigambibwa nti Gavumenti ya Bufaransa yaweerezza ennyonnyi y’amagye Pulezidenti Rajoelina n’agibuukira n’abamu ku ba famire ye oluvannyuma lw’amagye okumuvaamu bwe gazze ku ludda lw’abeekalakaasi naddala abavubuka abaakazibwako erya GenZ.
Amawulire g’okudduka kwa Pulezidenti Rajoelina olwasaasaanye, Palamenti yatudde bukubirire n’eyisa ekiteeso ekimuggyamu obwesige.
Omuduumizi w’ekibinja ekya CAPSAT, Col. Michael Randrianirina yagenze ku leediyo y’eggwanga eggulo akawungeezi n’alangirira nti amagye geegasse ku bantu okweddiza obuyinza Amagye okuwamba gaasoose kujeemera biragiro bya Pulezidenti Rajoelina gwe gagamba okuleeta mu buyinza mu 2009, bwe yabadde agalagidde okukuba ku nnyamba abeekalakaasi.
EBYAVUDDE OKWEKALAKAASA
Okwekalakaasa okwasudde gavumenti ya Rajoelina, kwatandika nga September 25, 2025, abavubuka bwe baava mu mbeera nga bawakanya ebbula ly’amazzi n’amasannyalaze okuvaavaako, n’embeera embi eri mu ggwanga.
Okwekalakaasa okwali okutono kwazimbulukuka ne bayingizaamu ebizibu ebirala ebibaluma omuli obwavu, enguzi esusse mu gavumenti, ebbeeyi y’ebintu okubeera
waggulu ennyo, n’ebirala, ne batandika okusaba Pulezidenti alekulire.
Rajoelina yagezezzaako okwegayirira abantu bave ku nguudo kubanga ebizibu byabwe yabadde abikolako, naye tebaamuwulirizza, abakozi ba gavumenti n’ebibiina ebirwanirira abakozi ne byegatta ku bavubuka ebintu ne bitabuka.
Kinajjukirwa nti Rajoelina yakulemberamu okwekalakaasa okwasuula gavumenti ya Pulezidenti Marc Ravalomanana mu 2009, era amagye ne gamulonda nga Pulezidenti w’akakiiko akaaweebwa obuvunaanyizibwa okutereeza eggwanga, ke yakulira okutuuka mu 2014.
Yava mu buyinza mu 2014, eggwanga n’alikwasa Hery Rajaonarimampianina, nga Pulezidenti oluvannyuma lw’okuwangula akalulu ka bonna. Rajoelina yakomawo ne yesimbawo mu 2018, era n’awangula n’addamu okufuga mu 2019 okutuusa eggulo bwe baawambye gavumenti ye.