POLIISI e Mityana eri ku muyiggo gwa nnannyini ssomero lya Bizmark High School, Henry Ssemakula eyafeze abaana ba S.4 musanvu n’abaggyako ssente z’okutuula ebigezo bya UNEB.
Omwogezi wa poliisi mu kitundu kya Wamala Region, Rachael Kawala yagambye nti buli muyizi yamuggyako 270,000/- mu April wa 2025 ng’abasuubizza bwe bagenda okutuulira ku Kalangalo Secondary School kuba essomero lye teririna senta ya UNEB.
Poliisi yakizudde ng’essomero libadde n’abayizi ba S4 musanvu era nga Ssemakula aliddukanya yekka nga ye mukulu w’essomero, y’akwata ssente, y’afumba era ye mukuumi. Waliwo abasomesa abatono abatera okuggyawo ne basomesa ne bamala ne bagenda.
Mu kiseera kino Ssemakula tannakwatibwa naye ng’anoonyezebwa kuba yavaayo n’ategeeza abayizi kaati nga October 12, 2025 nga bwe yali tabawandiisanga.
Bino we bijjidde nga RDC we Mukono, Hajjati Fatuma Ndisaba Nabitaka yaakamala okuggala essomero lya Cream Field SS erisangibwa e Nakifuma omukulu w’essomero gye yawandiisa abayizi basatu bokka kwabo 18 abali mu S4.
Abayizi ba S4 abawera 432,000 bayingidde olunaku Olwokusatu leero nga bakola ebigezo bya UNEB.