Amawulire

Poliisi enunudde abavubuka 47 be baali baasibira mu nnyumba nga babasuubizza emirimu

Poliisi enunudde abavubuka 47, abagambibwa okuggyibwa mu bitundu eby'enjawulo nga babasuubiza emirimu kyokka ne babasibira mu nnyumba okumala ennaku 6.

Poliisi enunudde abavubuka 47 be baali baasibira mu nnyumba nga babasuubizza emirimu
By: Godfrey Kigobero, Journalists @New Vision

Poliisi enunudde abavubuka 47, abagambibwa okuggyibwa mu bitundu eby'enjawulo nga babasuubiza emirimu kyokka ne babasibira mu nnyumba okumala ennaku 6.

Bano, abali wakati w'emyaka 16 okutuuka ku 30, baaggyibwa  Mbarara, Bushenyi, Kabale, Ntungamo,  Mityana ne Busoga ne babakungaanyiza e Nsangi mu kazigo nga babasuubiza emirimu gy’oku mitimbagano (online jobs)

Kigambibwa nti aba "Dream Visionaries" nga bali wansi wa "Alliance in Motion Global," be bali emabega w'okukung’aanya abavubuka bano, oluvannyuma lw'okubaggyako shs. 150,000/. buli omu.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala, Racheal Kawala, agambye nti babadde baabaggyako amasimu, nti ate oluvannyuma ne  babalagira okusaba abooluganda lwabwe shs 1,500,000/ mbu, eza kapito.

Agasseeko nti bonna bakuumirwa ku poliisi e Nsangi nga bwe balaba engeri gye bagenda okubazza ewaabwe, nga bwe banoonya akulira ekitongole kino, avunaanibwe okukukusa abantu.

Tags:
Poliisi
Bantu
Kununula
Kusuubiza
Mayumba