Poliisi mu Ssezzibwa, ebadde ku muyiggo gw'omwana, Kaira Nankya Mbuga 6, eyawambiddwa ab'emmundu okuva mu Naminya cell, Kiira ward e Njeru mu Buikwe ku wiikendi kyokka emuzudde nga baamusudde e Naminya.
Baabadde basaba obukadde 100 okumubaddiza kyokka poliisi emufunye n'etegeeza nti omwana bamuddiza bazadde be, okusinziira ku mwogezi wa poliisi mu Ssezibwa, Hellen Butoto.