Ekizimbe ky’essomero bakitemyemu amaduuka

KIMU ku bizimbe by’essomero lya Gavumenti erya Nakivubo Settlement pulayimale bakitemyemu amaduuka ne bagapangisa abasuubuzi abataddewo ebbaala omuli endongo abantu we bacakalira.

Minisita (owookusatu ku kkono) ng’alambula ekizimbe.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

EKIMU ku bizimbe by’essomero lya Gavumenti erya Nakivubo Settlement pulayimale bakitemyemu amaduuka ne bagapangisa abasuubuzi abataddewo ebbaala omuli endongo abantu we bacakalira.
Kino kitabudde abamu ku bazadde n’abalumirirwa essomero ne baloopa alikulira, Harriet Ibore ewa minisita wa Kampala, Hajjat Minsa Kabanda.
Kabanda olwabitegedde n’abissaamu engatto era we yatuukidde ku ssomero yasanze abantu bakung’aanye nga baagala kulumba alikulira abannyonyole. Minisita yabakkakkanyizza n’abuuza Ibore eyamuwadde olukusa okutema amaduuka mu kizimbe ky’essomero.
Yamwanukudde nti eyo pulojekiti ya ssomero eyasalibwawo olukiiko olulifuga. Minisita Kabanda yakubidde akola nga dayirekita w’Ebyenjigiriza mu KCCA, Charles Magnot eyayanguye n’atuuka ku ssomero ne bategeeza Ibore nti bye yabadde akoze bimenya mateeka.
Yalambuzza minisita ekizimbe ekyabadde kijjuddemu abapangisa ng’amaduuka agamu gatunda mwenge.
Ibore yagambye nti ekizimbe ekyatemeddwaamu amaduuka kimaze ebbanga nga tekikyasomeramu baana era essomero lyali lyakipangisa abasomesaab’ebweru nga basomesezaamu abantu abakulu mu ssomero eriyitibwa Dansen Education Centre.
Ababadde basomesezaamu bannyonnyodde nti balina endagaano ya myaka mwenda nga basomesezaawo abantu abakulu okuli aba S4 ne S6, kyokka baakedde ekizimbe ate bakitemyemu amaduuka.
Minisita yalagidde akulira essomero atwalibwe ku poliisi akole sitetimenti, bambega bamunoonyerezeeko ssaako abagagga abali emabega w’okutema amaduuka mu kizimbe kino.
Minisita era yasanze ng’ebizimbe ebimu baabipangisa abasuubuzi be basulamu ate ebirala baabipangisa ekkanisa nga y’esabisizaamu ate ebirala byafuulibwa sitoowa za basuubuzi. Minisita yalagidde poliisi enoonyereze ku nsimbi ezisoloozebwa gye zaalaga.
Gye buvuddeko Loodi mmeeya Erias Lukwago yalabula ku ssomero lino nti waliwo abagagga abeefunyiridde okulisengulawo nga bagula ettaka. Lukwago yalaga nti ekitundu ekimu kyasalibwako ne kiguzibwa omumyuka wa sipiika, Thomas Tayebwa wadde ate oluvannyuma KCCA yagaana okumukkiriza okuzimbawo nti baamuguza mwala.
Ibore yategeezezza nti essomero lirimu abayizi 219 ate ng’abayizi abakulu ababadde basomera mu kizimbe kino ekyatemeddwaamu amaduuka bali 101