Oluguudo lw’e Busaabala olwakakolwa luzzeemu ebinnya

ABAKULEMBEZE n’abatuuze ku luguudo lw’e Busaabala beeraliikirivu olw’oluguudo lwabwe olwakaggyibwako engalo ate okutandika okwesimamu ebinnya.

Oluguudo lw’e Busaabala olutandise okujjamu ebinnya.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

ABAKULEMBEZE n’abatuuze ku luguudo lw’e Busaabala beeraliikirivu olw’oluguudo lwabwe olwakaggyibwako engalo ate okutandika okwesimamu ebinnya.
Oluguudo luno lwamalirizibwa ku ntandikwa y’omwaka guno nga omulimu gwakolebwa aba kkampuni ya Abubaker Technical Services.
Ssentebe wa Divizoni ya Masajja, John Bosco Kiyaga yategeezezza nti, engeri ekkubo lino gye lyakolebwamu teriraga bukugu bwonna.
“Kyennyamiza okulaba ng’ekkubo eritannaweza wadde omwaka nga liggyiddwaako engalo okulaba nga lifaanana bwe liti,” Kiyaga bwe yategeezezza.
Yagambye nti, engeri ekkubo
lino gye lyakolebwamu, omutindo gwali wansi nnyo y’ensonga lwakilitandise okubomoka.
Yategeezezza nti, obukutu obwakolebwa okuyitamu mukoka bufunda nnyo ekintu ekivaako ettaka okuggweera ku kkoolaasi buli enkuba lw’etonnya.
Omu ku bakulembeze ku Ndikuttamadda, John Kiyingi yagambye nti, enkuba bw’etonnya mukoka ajjula mu luguudo olwo ettaka ne lisigala okwo era lye lisinze okwonoona kkoolaasi.
Abatuuze era beemulugunyizza ku bubenje obususse ku kkubo lino nga bakitadde ku butateekebwamu bugulumu obusala ku sipiidi.
Rayaan Mwesigwa, yategeezezza nti, mu bbanga lya mwezi guno gwokka obubenje nga 20 bwe bugudde e Masajja ku Gwowonya eggere era abasinze okutomerwa bavubuka ba bodaboda.
Ssentebe Kiyaga naye yakakasizza obubenje buno n’agamba nti, mu bitundu ebikyalimu kkoolaasi mmotoka zidduka nnyo ne kivaamu okutomera aba bodaboda n’abatambuze.