Minisita Rwamirama agumizza abalunzi b’enkoko ku katale k’amagi

MINISITA omubeezi ow'ebyamagana, Bright Rwamirana agumizza abalunzi b’enkoko ku katale k’amagi nti, bagenda kukagaziya katuuke mu mawanga g’Abawalabu bawone okufiirizibwa.

mu ku balunzi b’enkoko ng’aliko by’annyonnyola minisita Rwamirama.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

MINISITA omubeezi ow'ebyamagana, Bright Rwamirana agumizza abalunzi b’enkoko ku katale k’amagi nti, bagenda kukagaziya katuuke mu mawanga g’Abawalabu bawone okufiirizibwa.
“Temutya tugenda kugaziya akatale nga gye bujja tusuubira n’omwoleso gw’amawanga g’Abawalabu ng’ekibiina ky’abalunzi b’enkoko kya kufuna omukisa okugwetabamu bafune akatale ku bintu ebiva mu nkoko,” Rwamirama bw’agamba.
Gye buvuddeko abalunzi b’enkoko beemulugunyiriza ku nsi ze batta nazo omukago nga Kenya okwediima ne bagaana amagi gaabwe okuyingira ewaabwe kye bagamba nti, kyabafiiriza nnyo. Beemulugunyizza ku bicupuli by’eddagala ebiri ku katale ebibafiirizza ssente ennyingi enkoko ne zifa.
Bwe yabadde aggulawo omwoleso gw’abalunzi b’enkoko ogwategekeddwa ekibiina ekigatta abalunzi b’enkoko ekya Poultry Association of Uganda ku kisaawe kya Old Kampala, yagambye nti, ekirungi mu balunzi ba wano emmere n’ebirala bye bakozesa mu kulunda bye bya bulijjo.
Ssentebe w’ekibiina kino Dr. Henry Mambwe yagambye nti, baagala kutta mukago ne Gavumenti babunyise amagi mu masomero buli mwana alyenga eggi buli lunaku kuba galimu ekiriisa