ABANTU abakola emirimu gya bulijjo abaganyuddwa mu pulogulaamu y’amaka g’obwapulezidenti eya Youth Wealth Creation beeyamye okuwa Pulezidenti Musevini obuwagizi nga bamulonda n’okumuyiggira akalulu bakakase nti addamu okuwangula.
Bano baasangiddwa mu bitundu okuli; Kireka, Luzira, Banda Kasokoso, Mutungo nga bakola emirimu omuli okutunga, okusiika chapati, okusiika emberenge, chipusi n’abakola mu saluuni.
Obweyamu bwabwe baabutegeezezza omukwanaganya wa pulogulaamu eno, omukungu okuva mu maka g’obwapulezidenti, Faizal Ndase, bwe yabadde ezzeeyo mu bitundu gye bakolera okubalambula n’okulaba engeri gye bakozesaamu ebintu ebyabaweebwa ng’Entandikwa.
Okuva mu 2022, amaka g’Obwapulezidenti nga gayita mu agavunaanyizibwaako Jane Barekye gazze gakwasizaako abantu abakola emirimu gya bulijjo nga bongera kapito mu bizinensi zaabwe okuyita mu kubawa ebikozesebwa.
Bano abasoba mu 1,700 okuva mu munisipaali za Kampala ettaano okuli Lubaga, Kawempe, Nakawa, Makindye ne Kampala Central be baakaganyulwa nga baweebwa ebintu okuli eng’aano, ebyalaani, obummonde, dulaaya za saluuni, butto n’obuuma obusiika emberenge.
Ndase yatandise eddimu ly’okugenda ng’alondoola abantu bonna abaaganyulwa okulaba bwe bayimiridde mu nsonga z’okukyusa obulamu bwabwe n’akakasa nti ekigenderwa kya pulezidenti ekya pulogulamu eno kituukirira.
Serena Malutia atunga ekyalaani mu Kiganda zooni e Kasokoso, yategeezezza nti embeera yali nzibu nnyo naye okuva bwe yaweebwa ekyalaani waakiri kati asobola okubeera ne ssente mu nsawo ng’olunaku asobola okuteraka 10,000/- ng’aziggye mu kyalaani.
Zam Namirimu asiika chipusi mu Agati zooni e Luzira, eyaweebwa obummonde, butto n’akuuma akasiika chipusi, agamba nti ku
bye bafunye okuyita mu pulogulamu eno bamativu nti singa baddamu ne balonda Pulezidenti Museveni ate bagenda kufuna n’ebisingawo era n’akunga Bannayuganda bonna obutabuzaabuzibwa balonde Museveni ayongere okubakwatako.
Ndase yategeezezza nti oluvannyuma lw’okulondoola abantu bano balina enteekateeka y’okukung’anya abazze baganyulwa mu Kampala beekolemu zi SACCO mu bitundu byabwe pulezidenti asobole okwongera okubassizaamu ssente bazeewole bayongere okusitula embeera zaabwe.
Yasiimye mukaawe Barekye olw’okubeera nga takoowa kuyamba bantu abali mu bwetaavu.