Mwagazise abaana okugaba omusaayi

ABAZADDE basabiddwa okukubiriza abaana baabwe okwettanira okugaba omusaayi beegobeko endwadde eziva ku kubeera nagwo mu bungi obususse mu mubiri, ate n’okutaasa obulamu bw’abo abagwetaaga mu malwaliro.

Abamu ku bayizi nga bagaba omusaaayi.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

ABAZADDE basabiddwa okukubiriza abaana baabwe okwettanira okugaba omusaayi beegobeko endwadde eziva ku kubeera nagwo mu bungi obususse mu mubiri, ate n’okutaasa obulamu bw’abo abagwetaaga mu malwaliro.
Okuluηηamya kuno kwakoleddwa, Dr. Moses Turyamureeba, omukungu mu kitongole ekikuη− ηaanya omusaayi mu ggwanga ekya Nakasero Blood Bank, abaalaze ng’ebbula ly’omusaayi bwe libeerawo ng’abayizi bawummudde.
Yabadde akulembeddemu okukuηηaanya omusaayi okwategekeddwa ku ssomero lya
St. Julian High School e Gayaza okwategekeddwa aba Rotary Club of Kasangati.
Turyamureeba yategeezezza nti, kikulu nnyo okuwaayo omusaayi kubanga kiyambako
 okutangira endwadde wamu n’okukendeeza ku bbula ly’omusaayi eribeerawo.
Yategeezezza nti, obuzibu bubeerawo nnyo mu biseera ng’abaana bali mu luwummula
kubanga oluusi ekitongole kinoonya omusaayi nga tebalina gye baguggya.
Asabye abantu okwongera okugaba omusaayi kubanga buli  lwe gutabeerawo n’obulamu
bw’abantu abali mu malwaliro bubeera mu matigga.
Dr. Gloria Kasozi, okuva mu Rotary Club of Kasangatim yategeezezza nga bwe baategese
olusiisira luno nga omu ku kaweefube w’okukendeeza ku bbula ly’omusaayi mu ggwanga n’okumanyisa abaana ku bwe bayinza okwekuuma endwadde ez’enjawulo.
Yasabye abantu okwekebezanga endwadde ng’obudde bukyali kiyambeko okuzijjanjaba nga tezinnasajjuka.