Aba UWA baagala tuliriyooni 3 okusiguukulula akati akalidde eddundiro ne kagoba ensolo z'omu nsiko

EKITONGOLE ekivunaanyizibwa ku bisolo by’omu nsiko ( Uganda Wild life Authority) kiwanjagidde gavumenti ekiyambe ku kiddo ekivuddeko ensolo okudduka mu ddundiro lyazo erya Queen Elizabeth National park  e Kasese,  eggwanga bwe liba lyakwongera okufuna mu byobulambuzi.

Aba UWA baagala tuliriyooni 3 okusiguukulula akati akalidde eddundiro ne kagoba ensolo z'omu nsiko
By Teopista Nakamya
Journalists @New Vision
#UWA #Kiddo #Kugoba #Nsiko #Kwagala

EKITONGOLE ekivunaanyizibwa ku bisolo by’omu nsiko ( Uganda Wild life Authority) kiwanjagidde gavumenti ekiyambe ku kiddo ekivuddeko ensolo okudduka mu ddundiro lyazo erya Queen Elizabeth National park  e Kasese,  eggwanga bwe liba lyakwongera okufuna mu byobulambuzi.

Ekiddo ekyeraliikirizza abakungu mu kitongole kimanyiddwa nga Kalemanjovu, kijjudde emiti egyefaanaanyiriza akasaana nga kiridde 'yiika' 7900 ne kireka ensolo nga tezirina we zibeera.

Ezimu Ku Nsolo Ezisangibwa Mu Ddundiro ezitandise okudduka olw'akati akalidde eddundiro.

Ezimu Ku Nsolo Ezisangibwa Mu Ddundiro ezitandise okudduka olw'akati akalidde eddundiro.

Akulira abakuuma ebisolo, Philemon Tumwebaze yategeezezza Bannamawulire nti ekiddo kyatandiikiriza mpola mu 2014 wakati mu ddundiro nga we kyamera tewaamera muddo ekisindiikirizza ensolo okuddukira mu bantu  eky'obulabe.

Bagezezzaako enkola ez'enjawulo okukisaanyaawo omuli okukisenda ne kiweetiiye naye nga kiddamu ne kimera okutuusa lwe baasalawo okuwa ttenda abantu b'ekitundu okusiguukulula emiti okuviira ddala ku Mirandira obutakosa kikula kya ttaka.

Buli 'yiika' emu baagambye nti bagisaasaanyizaako obukadde 4  mu kusasula abantu  ng’okusaanyaawo ekiddo kyonna kibeetaagisa  obuwumbi 3 ze bagamba nti teziriiwo.

Abakungu Okuva Mu Kitongole Kya Uwa Nga Bannyonnyola Bannamawulire

Abakungu Okuva Mu Kitongole Kya Uwa Nga Bannyonnyola Bannamawulire

Abantu 10 be bakozesebwa ku buli 'yiika' nga kibatwalira ennaku 25 okusiguukulula emiti egyo  n'okugyokya era nga ekitundu we baamala kyatereera n'ensolo zaakomawo.

  'Yiika' 761 ku ezo ezaaliibwa ekiddo ze zaakatereezebwa ng’ekitundu ekisigalidde balaga ssinga tekikolebwako kyandigoba abalambuzi .

Mu budde buno bategeezezza nti tebava mu kweewozaako kubanga ensolo zittira ddala abatuuze abali okumpi n’eddundiro nga ne ssente ezibaliyirira zibeekubya mpi so nga ne ffensi  y'amasannyalaze eyandizitangidde tennaba kuteekebwa buli weetaagisa.