EMIGOGO gya baagalana 3 bannamukisa abaawangula mu Bride and Groom okugenda okuwumulamu ku Entikko Safari Lodge esangibwa mu kkuumiro ly’ebisolo erya Murchison Falls okumala ebiro bibiri banyumiddwa bya nsusso ne basiima Vision Group ne Entikko okwongera ekirungo mu laavu yaabwe.
EKimu ku bisulo mwe baasuze bwe kyabadde kifaanana.
Mu July w'omwaka guno, kkampuni ya Vision Group ng'eri wamu ne kkampuni endala okwali Entikko Safari Lodge baategeka omwoleso gw'emikolo n’embaga ggaggadde ogwa Bride and Groom expo ogwayindira e Lugogo.
Mu mwoleso guno baategeka akazannyo bannamukisa 3 okwali Patience Nandala, Olivia Makubuya ne Justin Nakiyingi mwe baawangulira okumala ebiro 2 ku Entikko Safari Lodge nga buli kimu kisasuliddwa Vision Group ne Entikko Safari Lodge.
Bano nga bali wamu n'abaagalwa baabwe baasimbula Olwokutaano okuva ku kitebe kyaffe mu Industrial area yogaayoga ku Entikko Safari Lodge gye baayanirizibwa abakozi n’abatwala ekifo wakati mu mizira n'embuutu.
Abaagalana ku kamotoka akaabalambuzza mu kkuumiro ly'ebisolo ku Queen Elizabeth National Park
Oluvannyuma lw'okufuna ekyokunywa baatwalibwa mu bisenge ebiyooyooteddwa bye baasuzeemu okumala ebiro 2.
Olwomukaaga enkoko baagikutte mumwa okugenda okulambuzibwa era baalambude ebifo eby’enjawulo omuli ekkuumiro ly'ebisolo erya Murchison falls national park, Albert Nile n’ebirala nga bakira buli we batuuka nga beekubisa ebifaananyi n'okukwata obutambi ku masimu gaabwe okufuna ebijjukizo.
Akawungeezi akaasembyeyo abaagalana baakatandise mu sitayiro nga basoose kutuuka ku ntikko ya Murchison falls bwe baavuddeyo ne balyoka baagabulwa eky'eggulo eky'enjawulo mu kifo eky'abadde kyakaayakana ng'eno abayimbi b'e ivuga ebinansi aba Mubaku Dancers we babasanyusa
Omu ku bakozi ba Entikko Safari Lodge ng'abagula abawanguzi baffe ekyeggulo.
Ku Ssande baamaliriza obugenyi bwabwe era bakomezebwawo e Kampala ne basiima Vision group ne Entikko olw’olugendo luno olwabadde olunyuvu ebitagambika.
Kitunzi wa Entikko Safari Lodge, Martin Mugisha yateegeezza nti baasalawo okwetaba mu nteekateeka eno kubanga ekigo kyabwe baagala nnyo okulaba nti abantu bajja omukwano gwabwe ku ddaala erimu okudda ku ddala.
Alambuludde enti ekifo kyabwe buli muntu kye yandibadde yeeyunira okugenda okuwummulamu naddala abali mu laavu era n’ategeeza nti beetegefu okuddamu okwaniriza abawanguzi mu kifo kyabwe n'abalala na abakunga okukyeyuna.
Embogo ezaabadde mu ddundiro ze baalabye.
Amyuka akulira okuteekateeka ebivvulu mu kkampuani ya Vision Group, Kennedy Mwota asiimye ab'Entikko olw’enkolagana gye bataddewo ne kkampuni n’ayozaayoza abawanguzi olw’okumalako obulungi oluwummula bw’atyo n'akubiriza abantu abalala okwekuumira ku mikutu gya Vision Group gyonna okuli Bukedde TV, Bukedde Olupapula, Bukedde leediyo, Olupapula lwa New Vision n'emirala okusobola okumanya ku mikisa nga gino.