OMUYIMBI Mesach Ssemakula asabidde Zambali Bulasio Mukasa okuwangula akalulu.
Bano beesanze ku mukolo gwa Irene Ntale ng’eno Mesach yabadde agenze kuyimba ate Zambali ng’akolanga kalabaalaba muyite MC.
Mesach olwabadde okumaliriza okuy¬imba ng’agenda, n’ayogera ku kazindaalo ng’abulirayo nti; “omusajja waffe Zambali tukimanyi weesimbyewo era oyinza okuwangula naye totwerabira ffe mikwano gyo.’’
Wano Zambali we yamuyitidde n’akomawo n’amutegeeza nga bw’atayinza kubeerabira nti era bbo balina kukola kimu, kya kumusabira.
Bakira boogera bino ng’eno enduulu okuva mu bagenyi abaabadde ku mukolo ng’eri wag¬gulu. Byagenze okuggwa nga Mesach afuuse Omusumba, n’asaba abantu abalala okum¬wegattako basabire Zambali omukisa asobole okuwangula akalulu.