POLIIISI eyagala abasirikale 100,000 abagenda okukuuma akalulu. okusinziira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga ACP Rusoke Kituma .
Agamba nti bano bagenda kubatendekera ebbanga lya mwezi gumu nga bagenda kukolera ku ndagano ya myezi 3. Asabye abantu abaagala okuyingira Poliisi okuwayo okusaba kwabwe mu buwandiike ekafananyi Ndaga muntu ne mpapula ez'obuyigirize.
Agamba nti omuntu eyali akozeko ne Poliisi alina omukisa munene. Agamba baagala abantu abamanyi okwogera obulungi n'abantu. Alabudde abantu obutagigirira kuwandiiko kyona.