Abawala 17 bebakoze ebigezo bya senior 4 nga balina embuto, basatu babadde bayonsa, omuyizi omu yeyazaalidde mu bigezo

UNEB etegeezezza nti ebigezo bya senior 4 bitambudde bulungi n'abaana abetaaga okulabirirwa okwenjawulo nabo bakwatiddwa bulungi. 

Omwogezi wa UNEB Jennifer Kalule ng'annyonnyola
By Sulaiman Mutebi
Journalists @New Vision

UNEB etegeezezza nti ebigezo bya senior 4 bitambudde bulungi n'abaana abetaaga okulabirirwa okwenjawulo nabo bakwatiddwa bulungi. 

Okusinziira ku mwogezi w'ekitongole kya UNEB Jennifer Kalule ategeezezza nti waliwo abaana abakoze ebigezo nga balina embuto okugeza omuyizi wa millenium High School ebisa by'amusimba ng'ali mu bibuuzo era ne bamuyamba n'azaala bulungi, abalala 17 bakoze balina embuto era balabiriddwa bulungi kwossa n'abalala basatu abayonsa saako n'abaana abaali bagezaako okwekalakaasa nga bagamba nti History yali muzibu era ng'abo ebibuuzo babikolera ku mudumu gwa mmundu.

Jennifer agamba nti kati mu kiseera kino UNEB eri mu kutegeka bigezo bya P7 era ng'abaana 817930 bebagenda okutuula nga ku bano abalenzi bali 389,553 ate abawala 428373
Okuteeketeeka abaana kutandika ku lwokutano lwa week eno abazadde basabiddwa okuteekateeka abaana baabw obulungi .