Akazannyo ka Bukedde aka Gabula Ssekukkulu kakomyewo

ENTEEKATEEKA ya basomi ba Bukedde ey’okuwangula ebyassava bya ssekukkulu ekomyeewo mu maanyi.Ey’omwaka guno etuumiddwa Gabula Ssekukkulu ne Vayibu, ng’etongozeddwa olwalero ku mukolo ogubadde ku kitebe kya Vision Group mu industrial area.

Abavujjirizi ssaako n'abakulira Bukedde mu kutongoza akazannyo ka Gabula Sekukkulu
By Patrick Kibirango
Journalists @New Vision

ENTEEKATEEKA ya basomi ba Bukedde ey’okuwangula ebyassava bya ssekukkulu ekomyeewo mu maanyi.
Ey’omwaka guno etuumiddwa Gabula Ssekukkulu ne Vayibu, ng’etongozeddwa olwalero ku mukolo ogubadde ku kitebe kya Vision Group mu industrial area.

Simo Omunene w'ekibuga nga akutte eri ku ttu lya ssekukkulu

Simo Omunene w'ekibuga nga akutte eri ku ttu lya ssekukkulu


Gabula Ssekukkulu ow’omwaka guno awagiddwa Star Times, BClara H Property services ne Ugachick.
Abawanguzi bagenda kuwangula ebirabo okuli; set y’ebintu okuva mu Star Times ebalirirwaamu obukadde 3 eri abantu 25. 
Waliwo munnamukisa agenda okuwangula ekyapa ky’ettaka okuva mu BClara H Property services ltd ekiriko obugazi bwa fuuti 50 ku 100 ng’ettaka lisangibwa Gobero ku Hoima Road.
Aba UgaChick abatunda enkoko eri ku Alaali baakugabira abantu enkoko yabwe kabezwa bayite mu ssekukkulu ne vayibu.
Akulira ba kitunzi ba Vision Group Lorraine Tukagirwa alambuludde nti Bukedde nkola yaayo okuddiza ku basomi baayo buli mwaka ng’ekyomulundi guno kigenda kubeera kya vayibu nnyo n’asiima abavujjirizi baffe abakavaayo okuli; Star Times, BClara H Property services ne Ugachick.

Akulira Olupapula lwa Bukedde Michael Mukasa ssebbowa ng'ayogera ku kazannyo ka Gabula Sekukkulu

Akulira Olupapula lwa Bukedde Michael Mukasa ssebbowa ng'ayogera ku kazannyo ka Gabula Sekukkulu


 Omukunga’anya w’Olupapula lwa Bukedde Micheal Mukasa Ssebbowa, agambye nti okutandiika ne Mmande ya wiiki egya abantu bannamukisa bagenda kutandiika okwewangulira ebirabo bino.
Okuwangula ogenda mu lupapula lwa Bukedde n’ojjuza akakonge akagenda okubeera ku muko ogw’okubiri okutandiika ne Mmande n’okaleeta ku Bukedde oba n’okatwala we batundira empapula z’amawulire ga Bukedde awo obeera weetabye butereevu mu kazannyo.
Ssebbowa alambuludde nti buli wiiki wagenda kubaawo abawanguzi mu kalulu akajja okukwatibwanga mu lwatu ku Bukedde TV.
Aldrine Nsubuga Snr, amyuka pulezidenti wa Star Times, agamba nti basazeewo okwegatta ne Bukedde mu nteekateeka eno kubanga kkampuni ya maanyi ate nabo bamanyi era n’akunga abantu okwettanira Gabula Ssekukkulu ne vayibu bawangule.


Harbert Ssenyonga dayirekita wa BclaraH property services ltd, agamba nti abantu bangi be bakyuusizza embeera mu kukwatagana ne Bukedde nga ne ku mulundi guno beesowoddeyo.

Ono akoowodde abantu okugenda ku matabi gabwe okuli erisangibwa ku ETower ku Kampala Road ne Kyengera bagenda babaguze ettaka etuufu erisangibwa mu bifo eby’enjawulo nga Mpigi, Gobero, Maya, Nasangi, Kyotera ne walala.
Kitunzi wa Ugachick, Tonney Kimbugwe akubirizza abantu okwettanira enkoko yabwe eri mu bipimo eby’enjawulo mu maduuka gonna okwetoloola eggwanga.