Ssentebe wa NRM e Lubaga Ivan Majambere Kamuntu Ssemakula, yewuunyiza abaganda okubeera abeerabize ennyo, okusigala nga bakyakubira Kyagulanyi mu ngalo oluvannyuma lw'okukyalira entaana yeeyali presidenti wa Uganda Milton Obote eyaaggyawo obwakabaka bwa Buganda mu 1966.
Majambere agambye nti, obuvuyo bwonna obwaliwo mu ggwanga lino emabega bwasibuka ku Obote bweyaaggyawo obwakabaka bwa Buganda mu 1966, ssekabaka Sir Edward Muteesa II eyali Kabaka wa Buganda ebiseera ebyo naawanganguka oluvannyuma lwokusimattuka kuttibwa abajaasi ba Obote beeyasindika mu Lubiri e Mengo nebatta abantu enkumi n'enkumi n'olubiri nebaluwamba era Muteesa yaayita ku lugwanyu okuttibwa.
Ategeezezza nti, n'omukyala eyayambako okutemula  ssekabaka Muteesa e Bungereza mu buwanganguse gyeyali yaaddukira yava Gomba.
Nti ate  kyewuunyisa okulaba omuganda omulala Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyiddwa nga Bobi wine ate nga naye ava Gomba, okugenda ku ntaana ya Obote okumuwaana n'okumutendereza nga bweyakolera eggwanga ebyamagero.
"Ebintu nga bino byebisinze okutukuumira emabega nga Buganda okuba nti twerabira nyo ate neetusalawo mu kukyamuukirira, netusubwa oluusi okugabana ekitundu Kya keeki y'eggwanga ekinene " Majambere bwagamba.
Mujjukire nti, oluvannyuma lwa Obote okuggyawo obwakabaka mu 1966, ate pulezidenti Museveni yeeyabuzzaawo mu 1993 oluvannyuma lw'emyaka 27 nga Obote yaabuggyawo.
Neyeewuunya lwaki abaganda bateeka essuubi lyabwe mu muntu ate awaana Oyo eyaaggyawo obwakabaka, ng'amuyita eyali omukulembeze omulungi.
Bwatyo akoowodde obuganda yonna gyebuli okwewala okukyamuukirira mu kulonda okujja, bakole okusalawo okutuufu balonde bulungi nga January 15, 2026. Nga bajjukira byonna e yaliwo mu Buganda.