Ab'emmundu n'ebijambiya abagambibwa okulumba Poliisi e Kasese battiddwa

Abantu abawerako abemmundu n'ebijambiya abagambibwa okulumba poliisi e Kasese n'ebitundu ebyenjawulo, battiddwa n'abalala ne bakwatibwa. 

Ab'emmundu n'ebijambiya abagambibwa okulumba Poliisi e Kasese battiddwa
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

Abantu abawerako abemmundu n'ebijambiya abagambibwa okulumba poliisi e Kasese n'ebitundu ebyenjawulo, battiddwa n'abalala ne bakwatibwa. 

Ebikwekweto bino bikyagenda mu maaso okuwenja abazigu bano mu bitundu eby'enjawulo. 

Kidiridde abantu bano, okulumba ebitundu omuli Bundibugyo e Kakuuka, e Fortportal ku ssomero lya Nyakasula, Bunyangabo, poliisi station e Kaseese, Lugendabala police station, Kabalore ,n'awalala n'ekigendererwa eky'okutta n'okutuusa obulabe ku bantu. 

Omwogezi wa poliisi mu ggwanga Kituuma Rusoke, ategeezezza nti obulumbaganyi buno, bubaddewo nga bukya era abamu ku balumbaganyi battiddwa, okukwatibwa n'okutuusibwako ebisago. 

Ayongeddeko nti ne kuludda lw'abasirikale, nabo waliwo abalumiziddwa mu bulumbaganyi buno era ng'okuyigga bonna abali emabega w'obulumbaganyi buno, kugenda mu maaso. 

Agumizza abantu mu bitundu bya Rwenzori East ne Rwenzori West, okubeera abakakkamu nti kuba embeera bagirinnye ku nfeete.