Abagambibwa okutigomya abantu n'ebijambiya e Nsangi Poliisi ebakutte

Abasajja basatu abagambibwa okuba nti baludde nga bali emabega w'okubbisa ebijambiya e Nsangi n'emiriraano, bakwatiddwa poliisi. 

Abagambibwa okutigomya abantu n'ebijambiya e Nsangi Poliisi ebakutte
By Godfrey Kigobero
Journalists @New Vision

Abasajja basatu abagambibwa okuba nti baludde nga bali emabega w'okubbisa ebijambiya e Nsangi n'emiriraano, bakwatiddwa poliisi. 

Bano, kuliko Shaban Niwagaba, Eddie Turinawe ne Sulaiman Kawakki ,ku bigambibwa nti baludde nga batigomya abatuuze b'e Kyengera, Nsangi, Buddo n'ebitundu ebiriraanyewo mu kubabba n'okubatema. 

Niwagaba ne Turinawe baguddwako misango gyakutta n'okubbisa eryanyi ate ye munnabwe Kawakki n'avunaanibwa ogw'okugula ebibbe omuli amasimu era nga n'ezimu kigambibwa bamusanze nazo mu dduuka mu Kampala. 

Kidiridde ababbi abebijambiya abaludde nga batema ne batta n'okulumya abatuuze e Nsangi n'okunyaga ebintu ebiwerako era poliisi n'ebitongole ebikuumaddembe babadde mu kufeffetta abazigu bano wakati mu bunkeenke okuva mu batuuze. 

Omwogezi wa poliisi mu Kampala, Patrick Onyango, agambye nti  kino kyakuyabako ku batuuze okufuna ku tulo.