Ababadde bagulirira okubba ebigezo babakutte

Abantu basatu abagambibwa okugezaako okugulirira Omusikawutu akuuma ebigezo bya P7 okubibabbira, bakwatiddwa

Ababadde bagulirira okubba ebigezo babakutte
By Godfrey Kigobero
Journalists @New Vision

Abantu basatu abagambibwa okugezaako okugulirira Omusikawutu akuuma ebigezo bya P7 okubibabbira, bakwatiddwa. 

Abakwatiddwa kuliko George Odongo, Simon Ekutu ne Lovoisa Awoko , era nga bakuumirwa ku poliisi e Lira ng'okubuuliriza kugenda mu maaso. 

Kigambibwa nti bano, bagezezzaako okugulirira Omusikawutu n'ensimbi akakadde kamu, nti naye kwe kubayita ku Garden Hotel e Lira, gye babakwatidde. 

Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Kituuma Rusoke, agambye nti okubuuliriza kugenda mu maaso. 

Mu ngeri y'emu era alabudde abanoonya obululu bw'entebe y'obukulembeze bw'eggwanga, okwewala okuwogganya ebidongo okumpi n'amasomero we bakolera ebigezo n'okwewala ebikolwa ebirala ebitaataaganya abayizi bano