Abantu abatannamanyika bawambye omwana ne basaba bazadde obukadde musanvu

ABANTU abatannamanyika, bawambye omwana ow'emyaka esatu okuva mu nyumba, ne bakanda bazadde be obukadde 7 okumubaddiza.

Abantu abatannamanyika bawambye omwana ne basaba bazadde obukadde musanvu
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

ABANTU abatannamanyika, bawambye omwana ow'emyaka esatu okuva mu nyumba, ne bakanda bazadde be obukadde 7 okumubaddiza.

Bino, bibadde Nnyanama mu munisipaali ya Ssabagabo Makindye e Wakiso, abazigu ababadde mu kibinja, bwe bazinzeeko amaka ga Dennis Openi, ne bawamba omwana Agnes Nakecho 3 ne babulawo naye.

Kigambibwa nti abazigu we bayingiridde awaka, kitaawe Openi ne nnyina Agnes Atimu, tebaabaddewo era nga bamusanze ne  Catharine Abo mu nnyumba.

Kitegeezeddwa nti, basoose kubuuza abafumbo bano bombi gye baabadde nga n'ekidiridde, kusikaambula mwana, ne bakuuliita naye , nti oluvannyuma kwe kukuba essimu, nga basaba obukadde Musanvu.

Kizuuliddwa nti Openi ne banne abalala, baliko kampuni gye baddukanya etwala abantu ebweru nti era baliko abantu be baggyako ssente nga babasuubiza okubatwala, kyebataakola ne baggalawo ofiisi ne bekwekweka.

Kisuubirwa nti eno y'eriba nga y'ensonga ewambisizza omwana , ng'abagirimu b'ebo , abaggibwako ssente . Okusinziira ku amyuka omwogezi wa poliisi, okunoonyereza kukolebwa era avumiridde ekikolwa kino.