Abagambibwa okumenya amaduuka ku kizimbe kya JBK Plaza ne banyaga ssente n'ebintu bakwatiddwa

ABASAJJA babiri abagambibwa okumenya amaduuka 16 mu kizimbe kya JBK Plaza mu Kampala ne banyaga ssente n'ebintu ebiwerako , bakwatiddwa poliisi.

Abagambibwa okumenya amaduuka ku kizimbe kya JBK Plaza ne banyaga ssente n'ebintu bakwatiddwa
By Godfrey Kigobero
Journalists @New Vision
#JBK #Kumenya #Bintu #Kampala

ABASAJJA babiri abagambibwa okumenya amaduuka 16 mu kizimbe kya JBK Plaza mu Kampala ne banyaga ssente n'ebintu ebiwerako , bakwatiddwa poliisi.

Mu ngeri y'emu era, poliisi ekyayigga omukuumi w'ekizimbe kino, n'abantu abalala bataano, abagambibwa okubeera mu lukwe, mwe banyagidde obukadde obusoba mu 33 wamu ne ddoola 26,600.

Abaakwatiddwa, kuliko Beni Joseph amanyiddwa nga Young ne Samuel Bbosa era nga bakuumirwa ku poliisi ya CPS mu Kampala ng'okunoonyereza bwe kugenda mu maaso.

Abalala abayiggibwa, kuliko omukuumi Bosco Gahungu ne banne abalala bataano era nga  poliisi eri mu kweyambisa ebifaananyi bya CCTV kkamera ebyakwatiddwa ku dduuka lya G -12 ng'obunyazi buno bukolebwa nga Oct 20 omwaka guno.

Omwogezi wa poiisi mu Kampala Patrick Onyango, ategeezezza nti abazigu bano, baamenye amaduuka 16 nga mulimu agakola ku mobile money, forex bureau , n'ebyamaguzi ebirala ne babba.