Poliisi eyodde 136 ku by'okumenya amateeka mu Mukono, Wakiso ne Kampala!

Abantu 136 abagambibwa okubeera abamenyi b'amateeka, bayooleddwa mu bikwekweto ebyakoleddwa wiiki ewedde.

Poliisi eyodde 136 ku by'okumenya amateeka mu Mukono, Wakiso ne Kampala!
By Godfrey Kigobero
Journalists @New Vision
#Mukono #Kampala #Mateeka #Kumenya

Abantu 136 abagambibwa okubeera abamenyi b'amateeka, bayooleddwa mu bikwekweto ebyakoleddwa wiiki ewedde.

Mu bikwekweto bino , ebyakoleddwa e Mukono, Kampala, ne Wakiso, baazulidde enjaga ewerako n'ebitamiiza ebirala, ebintu ebigambibwa okuba ebibbe ne kalonda omulala mungi.

Bigendereddwa okukendeeza ku bumenyi bw'amateeka obubadde bususse wamu n'okwetegekera ennaku enkulu, abantu basobole okuziyitamu obulungi.

Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala, Luke Oweyesigyire, annyonnyodde nti , bakyagenda mu maaso n'ebikwekweto bino.