UPDF egenda kuwandiisa abakuuma ddembe 600 ku ddaala lya LDP

EGGYE lya UPDF lirangiridde nga bwerigenda okuwandiisa abaserikale ba LDP 600 mu disitulikiti eziri mu bitundu bya Rwenzori abalumbaganyi abava mu mawanga agatwetolodde gye baabadde batandise okweriisa enkuuli.

Ekiwandiiko ekifulumiziddwa UPDF
By Joseph Mutebi
Journalists @New Vision

EGGYE lya UPDF lirangiridde nga bwerigenda okuwandiisa abaserikale ba LDP 600 mu disitulikiti eziri mu bitundu bya Rwenzori abalumbaganyi abava mu mawanga agatwetolodde gye baabadde batandise okweriisa enkuuli.

Mu kiwandiiko ekyatereddwako omukono gw’omwogezi wa UPDF Maj Gen Felix Kulayigye yagambye nti bagenda kutandika okuwandiika abaserikale bano  nga November/10/2025 mu bitundu bya Rwezori okuli disitulikiti y’e Kamwenge, Kabarole, Bunyangabo, Kasese, Bundibugyo ne Ntoroko.

Kulayigye yagambye nti omuntu yenna agenda okuwandiisibwa okuyingira mu ggye lino ateekwa okubeera nga mwana nzaalwa ya mu Uganda, ateekwa okuba nga mulamu bulungi era nga mwetegeefu okukwebejjebwa abasawo ba UPDF.

Buli  agenda okwegatta ku ggye lino oba mukazi oba musajja  ateekwa okubeera ng’ali wakati w’e myaka 18 ne 25.

Mu ngeri y’emu ateekwa okubeera ng’alina obuyigirize obutasukka S.4 oba ebiwandiiko ebyenkanankana obuyigirize bwa S.4.

Ebbaluwa esaba okuyingira eggye lino eteekwa okubeera nga ewandiisidwa mukono gwe, nga ekakkasiddwa n’omukono gwa LC I, LC II ne LCIII gattako n’ogwa GISO ne DISO.

Omuntu yenna agenda okuteekamu okusaba kwe alina okubeera nga mutuuze wa mu disitulikiti eyo, alina empiisa nnungi era nga talina musango gwa nagoomola gwonna gwe yali azizza.

Mu bbaluwa eno eyawandikiddwa nga November/04/2025, Maj Gen Kulayigye yagambye nti omuntu yenna anakwatibwa nga agingiridde ebiwandiiko aggya kukwatibwa era avunaanibwe mu   mbuga z’amateeka.               

Abagenda okuwandiisibwa balina alina okubeera nga mulamu era ng’alina ne bbaluwa gya wandiisiza omukono gwe, nga esembeddwa  aba LCI, LCII, LCIII , DISO ne GISO, ng’alina ne densite eriko NIN, bbaluwa y’obuyigirize eya S.4. abanabeera bayissemu bakutwalibwa batendekebwe.

Buli disitulikiti UPDF gy’egenda okuwandiisa aba LDP eyagalaayo  100  okuweza omuwendo gwa 600. Kabarole bakutandika okuwandika nga November/10/2025 ku  kisaawe kya Boma grounds, Novermber/11/2025 Kamwenge ku kitebbe kya disituliki, November/12/ 25 bakubeera Bunyangabo ate e Kasese bakubeerayo nga November/13/ 25, Bundibugyo bakubeerayo November/14/2025 ate Entoroko Novembermber/15/2025

Amyuka omwogezi wa UPDF Col Henry Obbo yagambye nti abaserikale ba LDP bano beebo abadda mu bifo byaba LDU bannayuganda abasinga be bali bamaanyi nga bakuyamba nnyo mu bitundu bya disitulikiti zino okunyweza ebyokwerinda ebibadde bitabusse naddala abalumbaganyi bwe baabadde batandiise okubisenseera.

“Bano bakolera wansi wa UPDF mu ggye ezibizzi [Reserve Forces] nga bakola nnyo okukakkanya obuzzi bw’e misango mu Kampala mu 2019 bannansi bwe bali batandiise okutulugunyizibwa mu ngeri etategerekeeka gattako ebitundu bya Karamoja ne Soroti.