OMUBAKA wa President mu Kampala wakati, Shaffik Ali Nsubuga, alabudde abasirikale ba poliisi , obutamala gakwata na kuggalira bantu mu ngeri eyekifamukokko.
Ategeezezza nti bwe wabeerawo ebikwekweto, abakwatiddwa , balina okubassa mu kifo, ne bayita abakulembeze aba LC1 , okusunsulamu abakyamu, olwo abatalina misango ne bayimbulwa mbagirawo.
Kiridde abantu ab'enjawulo, okulajanira Omubaka ono , ku ngeri poliisi n'abebyokwerinda abalala , gye bakolamu ebikwekweto ne bakwata abantu, naddala abavubuka.
Nsubuga, era nga yessentebe w'ebyokwerinda mu kitundu, agambye nti amaze okulagira abakulira poliisi okussa mu nkola ebiragiro bino.
Nga tugenda mu nnaku enkulu, alabudde abavuzi ba bus okwewala ' Kagende kadde' nti kuba oluusi , wasiwasi ono, y'avaako obubenje.
Asabye abantu okubeera abegendereza ennyo era bakalabaalaba, eri abantu abakyamu, babaloope nga bukyali.