Ekitongole ky'amakomera, kivuddeyo ne kinnyonnyola ku mbeera y'omuwagizi wa NUP Saudah Madaada bweri.
Ekiwandiiko ekifulumiziddwa okuli omukono gw'omwogezi w'ekitongole ky'amakomera, Frank Baine , agambye nti nga Sept 10 , Luzira women prison yafuna Saudah ng'agibwa mu kkooti e Kawempe.
Kigambibwa nti embeera ye teyali nnungi era nga Nov 01 , yagwa mu kinaabiro n'azirika,n'atwalibwa mu ddwaaliro, okufuna obujanjabi.
Baine agasseeko nti nga Nov 17, baalaba ng'embeera ye, yali eteredde nti kyokka bwe bamutwala mu kkooti nga Nov 18 , embeera n'eddamu okukyankalana ne bamuzzaayo okufuna obujanjabi.
Ayongeddeko nti nga Nov 19, bazzeemu okukasa nti embeera yabadde ezze mu nteeko.