EDWALIRO ekkulu ery’eggye lya UPDF e Mbuya likakasizza nga bweryatta omukago n’e ggwanga lya Amerika okutuusa obujanjabi eri abajaasi wakati w’amawanga gombi.
Ekibinja kya bakungu okuva mu ggwanga lya Amerika abazze wano mu Uganda bakulembeddwamu minisita omubeezi avunaanyizibwa eri abo abakozeddwa mu by’obulamu mu ntalo Dr Stephen Ferrara.

UPDF
“Tulina amalwaliro abiri getwateekawo oluvannyuma ly’obuvugirizi okuva mu ggwanga lya Amerika. Erimu liri mu nkambi y’a maggye ga UPDF e Somalia n’eddala mu ttendekero lya UPDF e Jinja” Maj Gen Dr. Ambrose Musinguzi bweyategezezza.
Maj Gen Dr. Ambrose Musinguzi yalaze okugenda mu maaso mu by’oby’bulamu okutukiddwako omukago guno omuli okutangira akawuka ka siriimu mu bajaasi n’okwetegekera enddwadde zinamutta wansi w’ekitongole kya “Africa Peace Rapid Response Partnership program ‘(APRRP).
Mu bamu ku bakugu mu by’obulamu mu ggye lya UPDF ababaddewo ku mukolo kuliiko Col Dr. Edwin B. Bagashe, Col Deborah Nayebare, Col Silas M. Kamada, Maj Dr. Luwada, and Lt Col Hon Evelyn Asiimwe n’abalala