NG'EBULA essaawa mbale omusomo gwa PAKASA gutuuke, ekifo wegutegekeddwa kimaze okutegekebwa obulungi wakati mu bikujjuko ebikulembeddemu.
Omusomo guno, gwakubeera ku kitebe kya Enterprises Uganda e Butabika mu maaso g'eddwaaliro, enkya ku Lwomukaaga. Okuyingira kwabwereere.
Omusomo gwa Pakasa, gukelembeddwa ebikujjuko ebiwerako omuli abakugu abenjewulo nga boogera ku business . Bituumiddwa Global Entrepreneurship week.
.
Enkya, tusuubira abagagga mu Kampala okuli Gaster Lule owa Ntakke, Aga Sekalaala Jnr owa Ugachik n'abalala nga basomesa abantu engeri gye bakolamu n'okukuuma business wamu n'ebintu ebirala bingi.

Ekifo awagenda okubeera omusomo gwa Pakasa
Akulira Enterprise Uganda, Charles Ocici , akoowodde abantu okujja mu bungi ku 'National Enterprise Development Centre ' e Butabika mu Kampala.
Mukasa Senkubuge okuva mu kitongole kya Enterprises Uganda naye bakoowodde abantu n'abasuubiza bingi eby'okuyiga ku olwo.
Omukungaanya owokuntikko, Babra Kaija naye akoowodde abantu okugwetabamu bayige ebintu eby'enjawulo.
Ku bataddemu ssente mu musomo guno mulimu aba Enterprise Uganda, Centenary bank , NSSF, Pearl Bank, Min ya by'ensimbi n'abalala