Amawulire

Abalambuzi okuva mu ggwanga lya Ghana bakubye omulanga

ABALAMBUZI okuva mu Gwanga lya Ghana basabye abakulembeeze bamawanga ga Africa okukkaanya basobole okukkiriza abantu okuyingira amawanga gaabwe awatali bukwakkulizo bungi  kubanga yengeri esobola okuyamba okutumbula eby'obulambuzi mu Africa . 

Abalambuzi okuva e Ghana
By: Godfrey Ssempijja, Journalists @New Vision

ABALAMBUZI okuva mu Gwanga lya Ghana basabye abakulembeeze bamawanga ga Africa okukkaanya basobole okukkiriza abantu okuyingira amawanga gaabwe awatali bukwakkulizo.bungi  kubanga yengeri esobola okuyamba okutumbula ebyobulambuzi mu Africa.

Abalambuzi okuva e Ghana

Abalambuzi okuva e Ghana

Bano nga bali wansi we kibiina kyabwe ekimanyibwa nga The Trans African Tourism and Unity Campaign ekirimu abamawulire kwosa n'abakungu abalala abakulembedwamu Ras Mubarak ayaliko Omubaka mulukiiko lwe Gwanga lya Ghana olukulu , Bano bakutambula amawanga 39  okuli Uganda , Kenya , Togo , Benin, Nigeria , Cameroon namawanga nga obugenyi mu Uganda bwa naku 7 era nga bwa bakungu 11 . 

Abalambuzi okuva e Ghana

Abalambuzi okuva e Ghana

Ras Mubarak  akulembedemu enteekateeka eno nga balambudde ebifo okuli Ndere center, Uganda Wild life Education Center , Kasubi Tombs nawalala  era ono mukwogera ko eli ategezeeza nti musanyufu okulyako mu Uganda naye nasaba abakulembeze bamawanga ga Africa okukuliza abantu nadala abalambuzi okuyingira mukufuluma amawanga ga Africa awatali bukwakulizo bwa manyi nga kino kirina kolebwa nga bagyawo Visa kubanga yemu kungeri yokulakulanya ebyobulambuzi mu Africa .

Abalambuzi okuva e Ghana

Abalambuzi okuva e Ghana

Assembyeyo nga asaba amawanga gano okufuba okwongera amanyi mu kukulakulanya enguudo wamu nensula okuli wooli ezomulembe nga zizimbibwa kisobozese abalambuzi okweyagala .